Isaaya 23:1-18 LGCB2014 - Bible AI

1 Obunnabbi obukwata ku Tuulo: Mukube ebiwoobe, mmwe ebyombo byʼe Talusiisi, kubanga Tuulo kizikirizibbwa ne mutasigala nnyumba newaakubadde ebyombo we biyinza okugobera. Ekigambo kyababikulirwa okuva mu nsi ya Kittimu.

2Musirike mmwe abʼoku kizinga nammwe abasuubuzi bʼe Sidoni abagaggawalidde ku nnyanja.

3Ku nnyanja ennene kwajjirako ensigo za Sikoli, nʼebyamakungula bya Kiyira bye byali amagoba ga Tuulo, era yafuuka akatale kʼamawanga.

4Okwatibwe ensonyi ggwe Sidoni naawe ggwe ekigo kyʼennyanja, kubanga ennyanja eyogedde nti,

4“Sirumwangako kuzaala wadde okuzaalako. Sirabiriranga baana babulenzi newaakubadde okukuza abaana aboobuwala.”

5Ekigambo bwe kirijja eri Misiri, balinakuwalira ebigambo ebiva e Tuulo.

6Muwunguke mugende e Talusiisi, mukube ebiwoobe mmwe abantu abʼoku kizinga.

7Kino kye kibuga kyammwe ekyʼamasanyu, ekibuga ekikadde, ekyagenda okusenga mu nsi eyeewala?

8Ani eyateekateeka kino okutuuka ku Tuulo, Tuulo ekitikkira engule, ekibuga ekirina abasuubuzi abalangira, ekirina abasuubuzi abamanyifu mu nsi?

9Mukama Katonda owʼEggye yakiteekateeka, amuggyemu amalala nʼekitiibwa kyonna, akkakkanye nʼabo bonna abamanyifu ku nsi.

10Ne bwʼotambula ku lukalu lwonna olwʼomugga Kiyira, tokyalina kifo ebyombo we bituukira ggwe muwala wa Talusiisi.

11Mukama Katonda agolodde omukono gwe eri ennyanja, nʼakankanya obwakabaka bwayo. Awadde ekiragiro ekikwata ku Kanani nti ebigo byakyo birizikirizibwa.

12Yayogera nti, “Tokyaddayo kukola bya masanyu nate, ggwe muwala wa Sidoni embeerera obetenteddwa. Yambuka osomoke ogende e Kittimu, naye nayo tolifunirayo kuwummula.”

13Laba ensi eyʼAbakaludaaya abantu abo abatakyaliwo. Omwasuli agifudde ekifo ekibeeramu ensolo ezʼomu ddungu. Baayimusa eminaala gyabwe, ne bamenya ebigo byabwe, era nʼabazikiriza.

14Mukube ebiwoobe mmwe ebyombo byʼe Talusiisi, ekigo kyo kizikiriziddwa.

15Mu biro ebyo Tuulo kiryerabirwa okumala emyaka nsanvu, gyʼemyaka kabaka gyʼawangaala. Naye oluvannyuma lwʼemyaka egyo ensanvu, ekirituuka ku Tuulo kiriba ngʼekiri mu luyimba olwʼomwenzi.

16“Kwata ennanga, otambulire mu kibuga, ggwe omwenzi eyeerabiddwa. Ennanga gikube bulungi, oyimbe ennyimba nnyingi olyoke ojjukirwe.”

17Oluvannyuma lwʼemyaka ensanvu, Mukama alikyalira Tuulo. Aliddayo ku mulimu gwe ogwʼobwʼamalaaya, era alibukola mu bwakabaka bwonna obuli ku nsi.

18Wabula amagoba ge ne byalifunamu biriyawulibwako bibe bya Mukama, tebiriterekebwa newaakubadde okukwekebwa, omuntu okubikozesa byʼayagala. Amagoba ge galigenda eri abo ababeera mu maaso ga Mukama, basobole okuba nʼemmere emala, nʼokuba nʼebyambalo ebirungi.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>