2Bwe kityo bwe kiriba,ekiriba ku kabona kye kiriba ne ku bantu,ekiriba ku mwami kye kiriba ne ku muweereza omusajja,ekiriba ku mugole we kye kiriba ne ku muweereza we omukazi,ekiriba ku atunda kye kiriba ne ku muguzi,ekiriba ku awola kye kiriba ne ku yeewola,ekiriba ku abanja kye kiriba ne ku abanjibwa.
3Okumalibwamu ensa, ensi erimalibwamu ddala ensa,nʼokunyagibwa, erinyagibwa.
20Ensi etagala ngʼomutamiivu,eyuugayuuga ngʼakasiisira bwe kayuugayuuga mu kibuyaga,omusango gwe gumulumiriza nnyo olwʼobujeemu bwe,era ensi egwa nʼetaddamu kuyimuka.
21Ku lunaku olwo Mukama Katonda alibonerezaabʼamaanyi abali waggulu mu bwengula,ne bakabaka abali wansi ku nsi.
22Balikuŋŋaanyirizibwa wamungʼabasibe bwe bakuŋŋanyirizibwa mu kkomera,era baliweebwa ekibonerezoekyʼokuggalirwa mu kkomera ennaku ennyingi.
23Omwezi gulitabulwatabulwa, nʼenjuba eriswazibwa;Mukama Katonda owʼEggye alifugira mu kitiibwaku Lusozi Sayuuni ne mu Yerusaalemi,ne mu maaso gʼabakadde.