Isaaya 25:1-12 LGCB2014 - Bible AI

1Ggwe, Ayi Mukama, gwe Katonda wange; ndikugulumiza ne ntendereza erinnya lyo, kubanga okoze ebintu ebyʼettendo, ebintu bye wateekateeka edda, mu bwesigwa bwo.

2Ekibuga okifudde ntuumu ya bisasiro, ekibuga ekiriko ekigo okifudde matongo, ekibuga omwaddukiranga bannaggwanga tekikyali kibuga, tekirizimbibwa nate.

3Abantu abʼamaanyi kyebaliva bakussaamu ekitiibwa nʼebibuga ebyʼamawanga agʼentiisa birikutya.

4Ddala obadde kiddukiro eri abaavu, ekiddukiro eri oyo eyeetaaga, ekiddukiro ngʼeriyo embuyaga nʼekisiikirize awali ebbugumu. Omukka gwʼabʼentiisa guli ngʼembuyaga ekuntira ku kisenge

5era ngʼebbugumu eryʼomu ddungu. Osirisa oluyoogaano lwʼabannaggwanga, era ngʼekisiikirize ekyʼekire bwe kikendeeza ebbugumu, nʼoluyimba lwʼabakambwe bwe lusirisibwa.

6Ku lusozi luno Mukama Katonda owʼEggye aliteekerateekerako abantu bonna ekijjulo ekyʼemmere ennungi, nʼembaga eya wayini omuka nʼennyama esingayo obulungi, ne wayini asinga obulungi.

7Ku lusozi luno alizikiriza ekibikka ekyetoolodde abantu bonna, nʼeggigi eribikka amawanga gonna,

8 era alimalirawo ddala okufa. Mukama Katonda alisangula amaziga mu maaso gonna, era aliggyawo okuswazibwa kwʼabantu be mu nsi yonna.

8Mukama ayogedde.

9Mu biro ebyo balyogera nti, “Ekyʼamazima oyo ye Katonda waffe; twamwesiga nʼatulokola. Ono ye Mukama Katonda twamwesiga; tusanyukire mu bulokozi bwe, era tumujagulizeemu.”

10 Ddala omukono gwa Mukama Katonda guliwummulira ku lusozi luno, naye Mowaabu alirinnyirirwa wansi we, ngʼessubi bwe lirinnyirirwa okukolamu ebijimusa.

11Aligolola emikono gye, ngʼomuwuzi bwʼagolola emikono gye ngʼawuga. Katonda alikkakkanya amalala ge newaakubadde ngʼemikono gye gikola ebyʼamagezi.

12Alimenya bbugwe omuwanvu, nʼamusuula, alimusuula ku ttaka, mu nfuufu.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>