Isaaya 26:1-21 LGCB2014 - Bible AI

1Mu biro ebyo oluyimba luno luliyimbibwa mu nsi ya Yuda. Tulina ekibuga ekyʼamaanyi; Katonda assaawo obulokozi okuba bbugwe waakyo nʼekigo kyakyo.

2 Ggulawo wankaaki, eggwanga ettukuvu liyingire, eggwanga erikuuma okukkiriza.

3Mukama alikuuma mirembe oyo amaliridde okumwesiga mu mutima gwe.

4Weesigenga Mukama ennaku zonna, kubanga emirembe giri waggulu mu Mukama, Mukama Katonda oyo atoowaza.

5Mukama lwe lwazi olutaggwaawo, akkakkanya ekibuga ekyʼamalala, akissa wansi ku ttaka, nʼakisuula mu nfuufu.

6Kirinnyirirwa ebigere byʼabanyigirizibwa, nʼebisinde byʼabaavu.

7Ekkubo lyʼabatuukirivu ttereevu; Ggwe atuukiridde, olongoosa olugendo lwʼomutuukirivu.

8Weewaawo Mukama Katonda tukulindirira nga tutambulira mu mateeka go, era erinnya lyo nʼokumanyibwa kwo kwe kwegomba kwʼemitima gyaffe.

9Omwoyo gwange gukuyaayaanira mu kiro, omwoyo gwange gukunoonyeza ddala. Bwʼosalira ensi omusango, abantu bʼensi bayiga obutuukirivu.

10Omukozi wʼebibi ne bwʼakolerwa ebyekisa, tayiga butuukirivu. Ne bwʼabeera mu nsi eyʼabatuukiridde, yeeyongera kukola bibi, era talaba kitiibwa kya Mukama Katonda.

11 Mukama Katonda omukono gwo guyimusibbwa waggulu, naye tebagulaba. Ka balabe obunyiikivu bwo eri abantu bo baswazibwe, omuliro ogwaterekerwa abalabe bo ka gubamalewo.

12Mukama Katonda, otuteekerateekera emirembe, nʼebyo byonna bye tukoze, ggwʼobitukoledde.

13Ayi Mukama Katonda waffe, abafuzi abalala batufuze nga wooli naye erinnya lyo lyokka lye tussaamu ekitiibwa.

14Baafa, tebakyali balamu; egyo emyoyo egyagenda tegikyagolokoka. Wababonereza nʼobazikiriza, wabasaanyizaawo ddala bonna, ne watabaawo akyabajjukira.

15Ogaziyizza eggwanga, Ayi Mukama Katonda ogaziyizza eggwanga.

15Weefunidde ekitiibwa, era ogaziyizza ensalo zonna ezʼensi.

16Mukama Katonda, bajja gyʼoli mu nnaku yaabwe, bwe wabakangavvula, tebaasobola na kukusaba mu kaama.

17Ngʼomukyala owʼolubuto anaatera okuzaala, bwʼalumwa nʼakaaba mu bulumi, bwe tutyo bwe twali mu maaso go, Ayi Mukama Katonda.

18Twali lubuto, twalumwa, naye twazaala mpewo Tetwaleeta bulokozi ku nsi, tetwazaala bantu ba nsi.

19 Naye abafiira mu ggwe balirama, emibiri gyabwe girizuukira. Mugolokoke, muleekaane olwʼessanyu. Ssuulwe wo ali ngʼomusulo ogwʼoku makya, ensi erizaala abafudde.

20Mugende abantu bange muyingire mu bisenge byammwe muggalewo enzigi zammwe. Mwekweke okumala akabanga katono, okutuusa ekiruyi kye lwe kirimuggwaako.

21Weewaawo laba Mukama Katonda ava mu kifo kye gyʼabeera okubonereza abantu bʼensi olwʼebibi byabwe. Ensi erikwekula omusaayi ogwagiyiikako, era teriddayo nate kukweka abattibwa.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>