Isaaya 27:1-13 LGCB2014 - Bible AI

1 Mu biro ebyo, Mukama Katonda alibonereza nʼekitala kye, ekitala kye ekyʼamaanyi, ekikambwe era ekinene, alibonereza Lukwata omusota ogwekulungula, Lukwata omusota ogwezinga, atte nʼogusota gwʼennyanja.

2Mu biro ebyo “Yimba oluyimba ku bibala ebyʼennimiro eyʼemizabbibu ebaze ebibala.

3Nze Mukama Katonda, ennimiro nze ngirabirira era nze ngifukirira buli kiseera. Ngikuuma emisana nʼekiro Waleme kubaawo nʼomu agikola akabi.

4Siri munyiivu. Singa katazamiti nʼamaggwa binnumba, nandibitabadde mu lutalo? Byonna nandibyokezza omuliro.

5Oba si weewaawo ajje gye ndi afune obuddukiro, tutabagane, weewaawo tutabagane.”

6Mu biro ebijja Yakobo alisimba emirandira, Isirayiri aliroka nʼamulisa nʼajjuza ensi yonna ebibala.

6

7Mukama amukubye omuggo ngʼakuba abo abaamukuba? Attiddwa nga be yatta, bwe battibwa?

8Olwanagana naye nʼomusobola, nʼomuwaŋŋangusa, omugoba nʼokuwuuma okwʼamaanyi, ngʼembuyaga eyʼebuvanjuba bwʼefuuwa ku lunaku lwayo.

9Ekyo kye kiriggyawo omusango gwa Yakobo, era ekyo kye kiriba ekibala ekijjuvu ekiriggyawo ekibi kye. Bwʼaliddira amayinja gonna agʼekyoto okuba amayinja agʼennoni agayasiddwayasiddwa, tewaliba Baasera newaakubadde ebyoto ebyʼokwoterezaako obubaane ebirisigala biyimiridde.

10Ddala ddala ekibuga ekyaliko enkomera kaakano matongo, ekirekeddwa awo ngʼeddungu. Eyo ennyana gyʼeriira era gyʼegalamira, nʼerya amalagala gonna ku matabi gaago.

11Amatabi gaakyo bwe gakala, gamenyebwako, abakazi ne bagakuŋŋaanya ne bagakumisa omuliro. Bano bantu abatategeera, eyamukola tamusaasira, nʼeyamutonda tamukwatirwa kisa.

12Mu biro ebyo Mukama alikusengejja okuva mu mazzi agakulukuta agʼOmugga Fulaati okutuuka ku mugga gwʼe Misiri we guyiwa, era mmwe abaana ba Isirayiri mulikuŋŋaanyizibwa kinnoomu.

13Era mu biro ebyo ekkondeere eddene lirivuga, nʼabo abaali boolekedde okuzikiririra mu nsi yʼe Bwasuli, nʼabo abaali baawaŋŋangusizibbwa mu Misiri balikomawo ne basinza Mukama ku lusozi olutukuvu e Yerusaalemi.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>