1Zikusanze engule eyʼamalala gʼabatamiivu aba Efulayimu, zikusanze ekimuli ekiwotoka[20] ekyʼobulungi bwʼekitiibwa kye, ekiri ku mutwe gwʼekiwonvu ekigimu, Zikusanze ekibuga kyʼabo abatamiivu.
2Laba, Mukama wa maanyi mangi ddala, ngʼembuyaga eyʼomuzira nʼembuyaga ezikiriza, ngʼenkuba eyʼamaanyi ereeta amataba, bwe ndisuula ekibuga ekyo nʼamaanyi mangi.
3Engule eyʼamalala eyʼabatamiivu ba Efulayimu aligibetenta nʼebigere bye.
4Ekimuli ekyo ekiwotoka ekyʼobulungi bwʼekitiibwa kye ekiri waggulu wʼekiwonvu ekigimu, kiriba ngʼettiini erisooka okwengera nga nʼamakungula tegannatuuka, era omuntu bwʼaliraba alinoga nʼalirya.
5Mu biro ebyo Mukama Katonda owʼEggye aliba ngule ya kitiibwa, engule ennungi eyʼabantu be abaasigalawo.
6Aliba nʼomwoyo ogwʼokusala ensonga mu bwenkanya oyo atuula nʼasala emisango, Aliba nsibuko ya maanyi eri abo abawoza olutabaalo ku wankaaki.
7Ne bano nabo batagala olwʼomwenge, era bawabye olwʼekitamiiza; Bakabona ne bannabbi batagala olwʼekitamiiza, era bawabye olwʼomwenge; bawabye olwʼekitamiiza, batagala ne bava mu kwolesebwa, era tebasalawo nsonga.
8Weewaawo emmeeza zonna ziriko ebisesemye, tewakyali kifo kiyonjo.
9“Ani gwʼagezaako okuyigiriza? Ani gwʼannyonnyola obubaka bwe? Abaana abaakalekayo okuyonka oba abo abaakaggibwa ku mabeere?
10Kubanga kola okole, kola okole Ekiragiro ku kiragiro, ekiragiro ku kiragiro, Wano katono na wali katono.”
11ⓣ Weewaawo, Katonda alyogera eri abantu abo nʼemimwa emigenyi mu lulimi olugwira,
12abo be yagamba nti, Kino kye kifo ekyʼokuwummuliramu eri oyo akooye, era kye kifo ekyʼokuwerera naye ne bagaana okuwuliriza.
13Noolwekyo ekigambo kya Mukama kyekiriva kibeera gye bali kola okole, kola okole, ekiragiro ku kiragiro, ekiragiro ku kiragiro, wano katono na wali katono, balyoke bagende bagwe kyabugazi, era balitegebwa, era ne batuukako ebisago ne bawambibwa.
14Noolwekyo muwulire ekigambo kya Mukama Katonda mmwe abantu abanyoomi, mmwe abafuga abantu ababeera mu Yerusaalemi ne mubanyooma.
15Weewaawo mwewaana nga bwe mugamba nti, Twakola endagaano nʼokufa, era twalagaana nʼamagombe. Ekikangabwa ekyʼamaanyi ne bwe kijja, tekirina kye kiyinza kutukola, kubanga tufudde obulimba ekiddukiro kyaffe, era mu bukuusa mwe twekwese.
16ⓤ Mukama Katonda Ayinzabyonna kyava agamba nti, Laba, nteeka ejjinja mu Sayuuni, ejjinja eryagezesebwa, eryʼoku nsonda, eryʼomuwendo, okuba omusingi; oyo alyesiga taliterebuka.
17Ndifuula obwenkanya okuba omuguwa ogupima, nʼobutuukirivu okuba omuguwa ogutereeza, era omuzira gulyera ekiddukiro ekyobulimba, nʼamazzi galyanjaala ku kifo ekyʼokwekwekamu.
18Nʼendagaano gye walagaana nʼokufa erijjulukuka, nʼendagaano gye walagaana nʼamagombe terinywera. Ekikangabwa ekyʼamaanyi bwe kirijja, kiribagwira.
19Weewaawo buli lwe kinaayitanga, kinaabagwiranga buli lukya emisana nʼekiro, era okutegeera obubaka buno kirireeta ntiisa njereere.
20Weewaawo ekitanda kimpi okwegololerako, ne bulangiti nnyimpi okwebikka.
21ⓥ Weewaawo Mukama aligolokoka nga bwe yagolokoka ku Lusozi Perazimu, era alisunguwala nga bwe yasunguwalira mu Kiwonvu ekyʼe Gibyoni, alyoke akole omulimu gwe, omulimu gwe ogwewuunyisa, atuukirize omulimu gwe, omulimu gwe ogwewuunyisa.
22Noolwekyo mulekeraawo okunyooma, enjegere zammwe zireme kweyongera kubazitoowerera. Nawulira okuva eri Mukama Katonda owʼEggye ngʼawa ekiragiro ekizikiriza ensi yonna.
22
23Muwulirize, era muwulire eddoboozi lyange; Musseeyo omwoyo, muwulire kye ŋŋamba.
24Omulimi bwʼalima nga yeetegekera okusimba, alima lutata? Alima bwʼayimirira nʼatema amavuunike mu ttaka?
25Bwʼamala okulyanjaala, tasigamu mpinnamuti, nʼasaasaanya kumino? Tasiga ŋŋaano mu kifo kyayo, ne sayiri mu kibanja kyayo, nʼomukyere mu nnimiro yaagwo?
26Katonda we amuwa ebiragiro, nʼamuyigiriza ekkubo etuufu.
27Empinnamuti teziwuulibwa na luso, newaakubadde okunyiga kumino ne nnamuziga wʼeggaali. Empinnamuti zikubibwa na muggo ne kumino nʼekubibwa nʼoluga.
28Empeke eteekwa okuseebwa okuvaamu omugaati, So nʼomuntu tagiwuula butamala. Newaakubadde ngʼagitambulizaako nnamuziga wʼeggaali lye eriwuula, Embalaasi ze si zeezigisa.
29Bino byonna nabyo biva eri Mukama Katonda owʼEggye, owʼekitalo mu kuteesa ebigambo, asinga amagezi.