Isaaya 29:1-24 LGCB2014 - Bible AI

1Zikusanze ggwe Alyeri[21], Alyeri ekibuga Dawudi kye yabeeramu, yongera omwaka ku mwaka, nʼentuuko zo ezʼembaga zigende mu maaso.

2Wabula ndizingiza Alyeri, alikuba ebiwoobe era alikungubaga, era aliba gye ndi ngʼekyoto kya Alyeri.

3Ndikuba olusiisira okukwetooloola wonna, era ndikwetoolooza eminaala, ne nkusaako ebifunvu.

4Olikkakkanyizibwa era olyogera ngʼoli mu ttaka, nʼebigambo byo biriwulikika nga biri wansi nnyo ngʼoli mu nfuufu. Eddoboozi lyo liriba ngʼeryʼoyo aliko akazimu nga liva mu ttaka, nʼebigambo byo biriba bya kyama nga biva mu nfuufu.

5Naye abalabe bo abangi baliba ngʼenfuufu eweweddwa, nʼebibinja byʼabakozi bʼebibi abasingayo obubi bibe ngʼebisasiro ebifuumuuka.

6Amangwago mu kaseera katono Mukama Katonda owʼEggye alikukyalira mu kubwatuuka ne mu musisi, ne mu ddoboozi eryʼomwanguka, ne mu kibuyaga ne mu nnimi zʼomuliro omukambwe oguzikiriza.

7Awo ebibinja byʼamawanga gonna ebirwana ne Alyeri birimulumba, birirumba nʼekigo kye ne bimutaayiza; kiriba ngʼekirooto, ngʼokwolesebwa mu kiro

8ngʼomuntu alumwa enjala bwʼaloota ngʼalya naye bwʼagolokoka nʼasigala ngʼakyalumwa enjala; oba ngʼomuntu alumwa ennyonta bwʼaloota ngʼanywa naye nʼagolokoka nga munafu ngʼakyalumwa ennyonta. Ekyo kye kirituuka ku bibinja byʼamawanga gonna agalwana nʼOlusozi Sayuuni.

9Muwuniikirire era mwewuunye Muzibirire era muzibe amaaso; Batamiire, naye si na wayini, batagala, naye si lwa mwenge.

10 Mukama akuwadde otulo tungi, azibye amaaso gammwe bannabbi, era abisse emitwe gyammwe abalabi.

11Okwolesebwa kuno kwonna tekulina makulu gyʼoli okuggyako okuba ebigambo ebissibwako akabonero mu muzingo. Omuzingo bwʼoguwa omuntu, asobola okusoma nʼomugamba nti, “Nkwegayiridde kino kisome,” ajja kukuddamu nti, “Sisobola, kuliko akabonero.”

12Oba omuzingo bwʼoguwa omuntu atasobola kusoma, nʼomugamba nti, “Nkwegayiridde kino kisome,” ajja kukuddamu nti, “Simanyi kusoma.”

13 Mukama agamba nti, “Abantu bano bansemberera nʼakamwa kaabwe, ne banzisaamu ekitiibwa nʼemimwa gyabwe, naye ngʼemitima gyabwe gindi wala. Okunsinza kwe bansinza, biragiro abantu bye baayigiriza.

14 Noolwekyo, laba ŋŋenda kwewuunyisa abantu bano. Amagezi gʼabagezi galizikirira, nʼokutegeera kwʼabategeevu kuliggwaawo.”

15Zibasanze abo abakola kyonna kye basobola okukweka Mukama enteekateeka zaabwe, abo abakola emirimu gyabwe mu kizikiza nga bagamba nti, “Ani atulaba? Ani alimanya?”

16 Mufuula ebintu ne birabika ngʼomubumbi alowoozebwa okwenkanankana nʼebbumba. Ekyakolebwa kiyinza okwogera ku eyakikola nti, “Teyankola”? Ensuwa eyinza okugamba omubumbi nti, “Talina kyʼamanyi”?

16

17Mu kiseera kitono, Lebanooni tekirifuulibwa nnimiro ngimu, nʼennimiro engimu nʼerabika ngʼekibira?

18Mu biro ebyo abaggavu bʼamatu baliwulira ebigambo byʼomuzingo, nʼamaaso gʼabazibe galizibuka okuva mu kiseera ekizibu ne mu kizikiza.

19Abawombeefu balisanyukira mu Mukama nate, nʼabeetaaga balisanyukira mu Mutukuvu wa Isirayiri.

20Weewaawo asinga obubi aliggwaawo, nʼomunyoomi alibula, nʼabo bonna abeesunga okukola obutali butuukirivu,

21abo abakozesa ebigambo okufuula omuntu omusobya, abatega eyeerwanako mu mbuga zʼamateeka, abawa obujulizi obwʼobulimba, ne baleetera abataliiko musango obutawulirwa mu mbuga zʼamateeka, balisalibwako.

22Noolwekyo Mukama eyanunula Ibulayimu bwʼati bwʼayogera eri ennyumba ya Yakobo nti, Yakobo taliddayo kuswazibwa, nʼobwenyi bwabwe tebulisiiwuuka.

23Bwe baliraba omulimu gwʼemikono gyange mu baana baabwe, balikuuma erinnya lyange nga ttukuvu. Balikakasa obutuukirivu bwʼOmutukuvu wa Yakobo era baliyimirira ne beewuunya Katonda wa Isirayiri.

24Abo abaabula mu mwoyo balifuna okutegeera, nʼabo abeemulugunya balikkiriza okuyigirizibwa.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>