Isaaya 3:1-26 LGCB2014 - Bible AI

1Laba kaakano, Mukama, Mukama Katonda owʼEggye, aggya ku Yerusaalemi ne ku Yuda ekibeesiguza ne kwe banyweredde, ekibeesiguza kyonna kʼebeere mmere, ka gabe mazzi.

2Omusajja owʼamaanyi, nʼomusajja omulwanyi omuzira, omulamuzi, ne nnabbi, nʼomulaguzi, nʼomukadde.

3Omuduumizi akulira ekibinja kyʼamakumi ataano, nʼomuwi wʼamagezi, omulogo, omufuusa omugezigezi.

4 Era ndifuula abalenzi obulenzi okuba abafuzi baabwe, nʼabaana obwana balibafuga.

5 Era abantu balijooga bannaabwe, buli muntu anyigirize munne, ne muliraanwa anyigirize muliraanwa we. Abato baliyisa mu bakulu amaaso nʼoyo omuntu ataliiko bwʼali ajooge omuntu owʼekitiibwa.

5

6Ekiseera kirituuka omusajja agambe muganda we nti, “Ggwe alina ku ngoye ba omukulembeze waffe, nʼebizibu bino ggwe oba obyetikka!”

7Naye ku olwo lwennyini aliddamu nti, “Si nze nʼaba owʼokubawonya, mu nnyumba yange temuli mmere, wadde ebyambalo. Temumpa kukulembera bantu!”

7

8Kubanga Yerusaalemi kizikiridde ne Yuda agudde! Kubanga ebigambo byabwe byonna nʼebikolwa biwakanya Mukama Katonda, bityoboola ekitiibwa kye.

9Engeri gye batunulamu eragira ddala nga bwe balina omusango, era boolesa ekibi kyabwe nga Sodomu[4] awatali kukweka nʼakatono. Zibasanze! Kubanga bo bennyini be beereeteedde okuzikirira.

9

10 Gamba abatuukirivu nti bo tebaabeeko mutawaana, kubanga baakuwoomerwa ebibala byʼebikolwa byabwe.

11 Zisanze abakozi bʼebivve! Banaatuuka mu kuzikirira! Balisasulibwa emikono gyabwe kye gikoze.

11

12Abantu bange banyigirizibwa abaana abato, abakazi kaakano be babafuga. Woowe! Abantu bange bakyamizibwa abakulembeze baabwe era babatabulatabula okubaggya mu kkubo ettuufu.

12

13 Mukama Katonda ali mu kifo kye mu mbuga, ayimiridde okusalira abantu be omusango.

14Mukama Katonda asala omusango gwʼabakadde nʼabakulembeze bʼabantu be. “Mmwe mwayonoona ennimiro yange eyʼemizabbibu. Ebyanyagibwa ku baavu biri mu nnyumba zammwe.

15Lwaki mulinnyirira abantu bange, lwaki mutulugunya abaavu?” bwʼayogera Mukama Katonda Ayinzabyonna.

15

16Mukama Katonda agamba nti, “Abakazi bʼomu Sayuuni[5] beemanyi, era batambula balalambazza ensingo nga batunuza bukaba. Batambula basiira nga bavuza obukomo bwʼoku magulu gaabwe.

17Mukama Katonda kyaliva aleeta amabwa ku mitwe gyʼabakazi ba Sayuuni, ne gifuuka gya biwalaata.”

18Olunaku lujja Mukama lwaliggya ku bakazi bʼomu Yerusaalemi ebintu byonna ebibaleetera amalala, ebikomo byʼoku magulu, ebitambaala ebibikka ku mitwe, nʼobukuufiira,

19ebyokumatu, ebyambalwa mu bulago, nʼobutimba bwʼomu maaso,

20ebyokumitwe, ebyokumikono, ebyomukiwato,

21empeta ezʼoku ngalo nʼezʼomu nnyindo,

22engoye ennungi, nʼeminagiro, nʼamaganduula, nʼobusawo,

23nʼendabirwamu, nʼengoye ezʼobutimba, nʼeza linena, nʼebitambaala ebyʼoku mitwe ebinaanikiddwa nʼamayinja agʼomuwendo, nʼengoye ezibabikka.

24Mu kifo kyʼakaloosa walibaawo kuwunya kivundu, awandibadde enkoba ennungi wabeewo biguwa, nʼawaali enviiri ennongoose obulungi wabeewo kiwalaata, mu kifo kyʼengoye babeere mu nziina, nʼawaali obulungi waddewo obulambe.

25Abasajja bo balittibwa kitala, abalwanyi bo abazira bagwire mu lutalo.

26Nʼenzigi za Sayuuni zirikaaba ne zikungubaga era ekibuga kyennyini kiriba ngʼomukazi alekeddwa obwereere ngʼatudde mu ttaka.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.