Isaaya 30:1-33 LGCB2014 - Bible AI

1“Zibasanze abaana abajeemu, Abakola enteekateeka ezitali zange ne bazituukiriza ne batta omukago[22] awatali Mwoyo wange ne bongera ekibi ku kibi,” bwʼayogera Mukama.

2“Baserengeta e Misiri nga tebanneebuuzizzaako, ne banoonya obuyambi ewa Falaawo, nʼokuva eri ekisiikirize kya Misiri okuba obuddukiro.

3Naye obukuumi bwa Falaawo buliswazibwa, nʼekisiikirize kya Misiri kirikuswaza.

4 Newaakubadde nga balina abakungu mu Zowani nʼababaka baabwe batuuse e Kanesi,

5buli muntu aliswazibwa olwʼeggwanga eritabagasa, abataleeta buyambi newaakubadde okuba abʼomugaso, okuggyako ensonyi nʼekivume,” bwʼayogera Mukama.

6Obunnabbi obukwata ku nsolo za Negevu bwe buno: Ababaka bayita mu nsi nga balaba ennaku ne batawaanyizibwa mu nsi erimu empologoma ensajja nʼenkazi, erimu essalambwa nʼomusota ogwʼobusagwa nga batadde ebyʼobugagga byabwe ku ndogoyi, nʼebintu byabwe ebyʼomuwendo ku mabango gʼeŋŋamira nga boolekedde ensi etaliimu magoba.

7Bagenda e Misiri, eterina kyeyinza kubayamba nʼakatono. Kyenva muyita Lakabu ataliiko kyayinza kukola.

8 Genda kaakano, okibawandiikire ku kipande, okiwandiike ku mizingo, kibabeererenga obujulizi obwʼemirembe nʼemirembe mu nnaku ezigenda okujja.

9Weewaawo bano bantu bajeemu, baana balimba, baana abateetegese kuwulira biragiro bya Mukama.

10Bagamba abalabi nti, “Temuddayo kufuna kwolesebwa,” Nʼeri bannabbi boogera nti, “Temuddayo kututegeeza kwolesebwa kutuufu. Mututegeeze ebitusanyusa, mulagule ebituwabya.

11Muve mu kkubo lino, mukyame muve ku luguudo luno, mulekeraawo okututegeeza ku Mutukuvu wa Isirayiri.”

12Noolwekyo bwʼati bwʼayogera Omutukuvu wa Isirayiri nti, “Olwʼokugaana obubaka buno, ne mwesiga okunyigirizibwa, ne mwesiga omulimba,

13ekibi kino kyekiriva kikufuukira bbugwe omuwanvu, alimu enjatika era azimbye, okutemya nʼokuzibula ngʼagudde.

14 Alimenyekamenyeka mu bitundutundu ngʼensumbi eyakolebwa mu bbumba, nʼasaasaanyizibwa awatali kusaasira, era tewaliba luggyo ku byamenyekamenyeka olulirabika okusobola okuyoozesa omuliro mu kyoto, oba okusenyesa amazzi mu kinnya.”

15Weewaawo bwʼati bwʼayogera Mukama Ayinzabyonna Omutukuvu wa Isirayiri nti, “Mu kwenenya ne mu kuwummula mwe muli obulokozi bwammwe, mu kusiriikirira ne mu kwesiga mwe muli amaanyi gammwe, naye temufuddeeyo.

16Wayogera nti, ‘Nedda tuliddukira ku mbalaasi.’ Kyoliva odduka. Wayogera nti, ‘Tuliddukira ku mbalaasi ezidduka ennyo.’ Ababagoba kyebaliva bawenyuka emisinde.

17Abantu olukumi balidduka olwʼokutiisibwatiisibwa kwʼomuntu omu; Olwʼokutiisibwatiisibwa kwʼabataano, olidduka, Okutuusa lwʼolisigala ngʼomulongooti okuwanikibwa bbendera oguli ku ntikko yʼolusozi, ngʼebendera eri ku kasozi.”

18Songa Mukama ayagala nnyo okuba owʼekisa gyʼoli; era agolokoka okukulaga okusaasira. Kubanga Mukama Katonda wa bwenkanya, balina omukisa bonna abamulindirira.

19Mmwe abantu ba Sayuuni ababeera mu Yerusaalemi, temuliddayo kukaaba. Alikukwatirwa ekisa bwʼolimukaabira ngʼomusaba akuyambe. Amangwago ngʼawulidde, alikwanukula.

20Newaakubadde nga Mukama akuwa omugaati ogwʼokulaba ennaku, nʼamazzi agʼokubonaabona,[23] abasomesa bo tebaliddamu kukwekebwa, era olibalaba nʼamaaso go.

21Bwʼolidda ku mukono ogwa ddyo oba ku gwa kkono, amatu go galiwulira eddoboozi emabega wo nga ligamba nti, “Lino lyʼekkubo, litambuliremu.”

22Olwo olyonoonayonoona ebintu ebyakolebwa nʼemikono ebiriko ffeeza, nʼebifaananyi byo ebyabikkibwako zaabu, era olibisuula nga bwʼosuula ekiwero ekikozesebwa mu nsonga za bakyala era olibigamba nti, “Muveewo.”

23Alibaweereza nʼenkuba olwʼensigo zʼosiga mu ttaka, nʼemmere eva mu ttaka eggimu nga nnyingi. Mu biro ebyo ente zo ziririira mu ddundiro eggazi.

24Ente nʼendogoyi ezirima ettaka zirirya omuddo ogwaterekebwa nʼemmere ensotte, eyawewebwa nʼekitiiyo ekyʼamannyo.

25Mu biro ebyʼokuttibwa okunene, emirongooti bwe girigwa, emigga gyʼamazzi girikulukuta ku buli lusozi oluwanvu na ku buli kasozi akagulumivu.

26 Omwezi gulyaka ngʼenjuba, nʼomusana gulyaka emirundi musanvu okusinga ogwa bulijjo, ngʼekitangaala kyʼennaku omusanvu zonna awamu, Mukama bwʼalinyiga ekinuubule kyʼabantu be, nʼawonya ekiwundu kyʼabaakosebwa.

27Laba, erinnya lya Mukama liva wala nʼobusungu obubuubuuka nʼomukka ogukutte ngʼekire; emimwa gye gijjudde ekiruyi, nʼolulimi lwe muliro ogusaanyaawo.

28Omukka gwe guli ngʼomugga gwʼamazzi agakulukuta nʼamaanyi, agabimba okutuuka mu bulago. Anyeenyanyeenya amawanga mu kakuŋŋunta akʼokuzikirizibwa era mu mba zʼabantu ateekamu eddobo eryʼokubawabya.

29Oluyimba luliba ngʼolwo lwoyimba mu kiro ngʼojaguza ku mbaga entukuvu; omutima gwo gulijaguza ngʼabantu bwe bajaguza nga bafuuwa endere ku lusozi lwa Mukama, ku lwazi lwa Isirayiri.

30Mukama aliyamba abantu okuwulira eddoboozi lye eryʼekitiibwa, alibaleetera okulaba omukono gwe nga gukka mu busungu obungi ennyo ne mu muliro ogusaanyaawo, ne mu bire ebibwatuka, ne mu muzira.

31Weewaawo eddoboozi lya Mukama lirisesebbula Bwasuli, alibakuba nʼomuggo gwe ogwʼobwakabaka.

32Buli muggo Mukama gwʼanakukubanga nʼoluga lwe olubonereza, guliba ngʼebivuga byʼebitaasa nʼentongooli, ngʼabalwanyisa nʼomukono gwe mu ntalo.

33Weewaawo Tofesi amaze ebbanga ddene nga yeeteekateeka; kyʼateekebwateekebwa kabaka. Ekinnya kyakyo ekyʼomuliro kiwanvu era kigazi, kijjudde omuliro nʼenku; omukka gwa Mukama gugukoleeza ngʼomugga gwa salufa.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>