1ⓔ Zibasanze abo abaserengeta e Misiri okuyambibwa, abeesiga embalaasi, abeesiga amagaali gaabwe amangi, abeesiga amaanyi amangi agʼabeebagala embalaasi ne batatunuulira Omutukuvu wa Isirayiri wadde okunoonya obuyambi bwa Mukama.
2Kyokka Mukama mugezi era asobola okuleeta akabi; tajjulula bigambo bye. Aligolokokera ku nnyumba yʼabatali batuukirivu, ne ku abo abayamba abakozi bʼebibi.
3ⓕ Naye Abamisiri bantu buntu si Katonda nʼembalaasi zaabwe mibiri bubiri. Katonda bwʼagolola omukono gwe oyo ayamba, alyesittala, nʼoyo ayambibwa aligwa era bombi balizikiririra wamu.
4Ddala ddala bwʼati bwʼayogera Mukama gye ndi nti, “Ngʼempologoma bwe wuluguma, empologoma eyʼamaanyi bwe wulugumira ku muyiggo gwayo era newaakubadde ngʼekibinja kyʼabasumba kiyitibwa awamu okugirumba, tetiisibwatiisibwa kuwowogana kwabwe, newaakubadde oluyoogaano lwabwe. Bwʼatyo ne Mukama Katonda owʼEggye bwʼaliserengeta, okulwanira ku lusozi Sayuuni ne ku busozi bwa lwo.
5Ngʼebinyonyi bwe bibuukira waggulu, bwʼatyo Mukama Katonda owʼEggye bwʼalisaanikira Yerusaalemi; alikikuuma, nʼakiwonya, alikiyitamu nʼakirokola.”
8“Bwasuli kirigwa nʼekitala ekitali kya muntu; ekitala ekitali kyʼabo abafa kirimusaanyaawo. Alidduka ekitala, nʼabavubuka be balikozesebwa emirimu egyʼamaanyi nʼobuwaze.
9Ekigo kyabwe kirigwa olwʼokutya, nʼabaduumizi baabwe balitekemuka omutima olwʼokulaba ebbendera eyʼolutalo,” bwʼayogera Mukama nannyini muliro oguli mu Sayuuni, era nannyini kikoomi ekiri mu Yerusaalemi.