Isaaya 33:1-24 LGCB2014 - Bible AI

1Zikusanze ggwe omuzikiriza ggwe atazikirizibwanga. Zikusanze ggwe alya olukwe mu balala, ggwe, gwe batalyangamu lukwe, bwʼolirekaraawo okuzikiriza, olizikirizibwa. Bwʼolirekeraawo okulya mu balala olukwe, balikulyamu olukwe.

2Ayi Mukama tusaasire, tukuyaayaanira. Obeere amaanyi gaffe buli makya, obulokozi bwaffe mu biro ebyʼokulabiramu ennaku.

3Olwʼeddoboozi eryʼokubwatuka, abantu balidduka, bwʼogolokoka, amawanga gasaasaana.

4Omunyago gwo, gukungulwa enzige ento, era abantu bagugwako ngʼekibinja kyʼenzige.

5 Mukama agulumizibwe, kubanga atuula waggulu, alijjuza Sayuuni nʼobwenkanya nʼobutuukirivu.

6Yʼaliba omusingi omugumu mu biro byo, nga lye tterekero eggagga eryʼobulokozi, nʼamagezi nʼokumanya. Okutya Mukama kye kisumuluzo kye tterekero lyʼobugagga obwo.

6

7Laba abasajja abazira abʼamaanyi bakaabira mu nguudo mu ddoboozi eryʼomwanguka, nʼababaka abʼemirembe bakaaba nnyo.

8Enguudo ennene tezitambulirwako, tewali azitambulirako. Endagaano yamenyebwa, nʼabajulizi baayo banyoomebwa, tewali assibwamu kitiibwa.

9Ensi ekungubaga era eyongobera, Lebanooni aswadde era awotose; Saloni ali ngʼeddungu, ngʼasuula Basani ne Kalumeeri.

9

10 Mukama agamba nti, “Kaakano nnaagolokoka, kaakano nnaagulumizibwa, kaakano nnaayimusibwa waggulu.

11Ofuna olubuto olwʼebisusunku, ozaala ssubi, omukka gwo, muliro ogukusaanyaawo.

12Abantu balyokebwa nga layimu bwʼayokebwa, balyokebwa omuliro ngʼebisaka byʼamaggwa amasale.”

13Mmwe abali ewala, mutegeere kye nkoze. Mmwe abali okumpi, mukkirize amaanyi gange.

14Abakozi bʼebibi abʼomu Sayuuni batidde, okutya kujjidde abatalina Katonda. “Ani ku ffe ayinza okubeera awamu nʼomuliro ogusaanyaawo? Ani ku ffe ayinza okubeera awamu nʼomuliro ogutaliggwaawo?”

15Atambulira mu butuukirivu, nʼayogera ebituufu, oyo atatwala magoba agava mu bubbi, nʼakuuma emikono gye obutakkiriza nguzi, aziba amatu ge nʼatawulira ntegeka za kutta, nʼaziba amaaso ge obutalaba nteekateeka ezitali za butuukirivu,

16ye muntu alituula waggulu mu bifo ebya waggulu, nʼobuddukiro bwe buliba ebigo ebyʼomu nsozi. Aliweebwa emmere, nʼamazzi tegalimuggwaako.

17Amaaso go galiraba kabaka mu bulungi bwe, ne galaba ensi eyeewala.

18Omutima gwo gulifumiitiriza ku ntiisa ngʼogamba nti, “Omukungu omukulu ali ludda wa? Ali ludda wa eyasoloozanga omusolo? Omukungu avunaanyizibwa eminaala ali ludda wa?”

19Toliddayo kulaba bantu abo abʼamalala, abantu abʼolulimi olutamanyiddwa, olulimi olutategeerekeka.

19

20Tunuulira Sayuuni ekibuga ekyʼembaga zaffe, amaaso go galiraba Yerusaalemi, ekifo ekyʼemirembe, eweema etalisimbulwa enkondo zaayo tezirisimbulwa, newaakubadde emiguwa gyayo okukutulwa.

21Weewaawo Mukama aliba Amaanyi gaffe era aliba ekifo ekyʼemigga emigazi nʼensulo engazi. Temuliyitamu lyato newaakubadde ekyombo ekinene tekiriseeyeeyeramu.

22Kubanga Mukama ye mulamuzi waffe, Mukama yʼatuwa amateeka, Mukama ye Kabaka waffe, yʼalitulokola.

23Emiguwa gyo gisumulukuse nʼomulongooti si munywevu, nʼettanga si lyanjuluze. Awo omugabo omungi guligabanyizibwamu, nʼabalala balitwala ebyʼomunyago.

24Tewali abeera mu Sayuuni alyogera nti, “Ndi mulwadde,” nʼabo ababeeramu balisonyiyibwa ekibi kyabwe.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>