1 Musembere mmwe amawanga muwulirize. Musseeyo omwoyo mmwe abantu. Ensi ewulirize, ne byonna ebigirimu, ensi ne byonna ebigivaamu.
2 Mukama anyiigidde amawanga gonna, ekiruyi kye kiri ku magye gaabwe gonna. Alibazikiririza ddala, alibawaayo okuttibwa.
3 Abantu baabwe abattibwa balisuulibwa ebweru, nʼemirambo gyabwe giriwunya, nʼensozi zirinnyikira omusaayi gwabwe.
4 ⓙ Emmunyeenye zonna ezʼomu ggulu zirisaanuuka, nʼeggulu liryezingako ngʼomuzingo; nʼeggye eryʼomu ggulu lirigwa, ngʼebikoola ebiwotose ebiva ku muzabbibu, ngʼebirimba ebyayongobera ebiva ku mutiini.
5 ⓚ Weewaawo ekitala kyange kinywedde ne kijjuzibwa mu ggulu, era laba, kikkira ku Edomu okusala omusango, abantu be mmaliddewo ddala.
6 Ekitala kya Mukama kisaabye omusaayi, kiriko amasavu, omusaayi gwʼabaana bʼendiga nʼembuzi, amasavu agava mu nsingo za sseddume. Mukama alina ekiweebwayo mu Bozula, era waliyo nʼokuttibwa okwʼamaanyi mu Edomu.
7 Embogo zirifiira wamu nazo, nʼobute obulume, ne ziseddume zirifiira wamu nazo. Ensi yaabwe erijjula omusaayi, nʼenfuufu erinnyikira amasavu.
7
8 Mukama alina olunaku olwʼokuwalanirako eggwanga, omwaka ogwʼokwesasuza, olwʼensonga eya Sayuuni.
9 Emigga gya Edomu girikalira ne gifuuka bulimbo,[24] nʼenfuufu ye erifuuka ngʼobuwunga bwa salufa ayokya. Ensi ye erifuuka ngʼobulimbo[25] obuggya omuliro.
10 ⓛ Talizikizibwa emisana nʼekiro, nʼomukka gwe gulinyooka ennaku zonna. Edomu alisigala kifulukwa emirembe nʼemirembe, era tewaliba nʼomu ayita mu nsi eyo.
11 Ekiwuugulu ekyʼomu ddungu nʼekiwuugulu ekireekaana, birikibeeramu. Ekiwuugulu ekinene ne namuŋŋoona birizimbamu ebisu byabyo. Katonda aligololera ekipimo ekyʼokwewunika, nʼekipimo ekinaaleka Edomu nga njereere.
12 Abakungu be tebalibaako kye bayita bwakabaka, nʼabalangira be bonna baliggwaawo.
13 Amaggwa galimera ku minaala egyʼekibuga kye, nʼemyennyango nʼamatovu ne bimera mu bigo bye ebyanywezebwa. Aliyiggibwa ebibe, era ebiwuugulu birimufuula ekifo ekyʼokuwummulirangamu.
14 Ensolo ezʼomu ddungu gye zirisisinkana empisi, nʼembuzi enkambwe ezʼomu nsiko gye ziriramusiganyiza. Era eyo ebisolo ebitambula ekiro nabyo biriwummula nga byefunidde ekifo ekyʼokuwummulirangamu.
15 Ekiwuugulu kiribiikira eyo amagi, ne kigaalula, ne kirabirira abaana baakyo wansi wʼekisiikirize kyakyo. Era eyo ne kamunye gyʼalikuŋŋaanira, empanga nʼenseera.
16 Tunula mu muzingo gwa Mukama osome. Tewali na kimu ku ebyo ekiribulayo, era ekirume kiriba nʼekikazi, nʼekikazi ne kiba nʼekirume. Akamwa ka Mukama ke kalagidde, era Omwoyo we yalibikuŋŋaanya.
17 Agabira buli kimu omugabo gwakyo, era omukono gwe gubigabanyiza mu kigera. Birikibeeramu ennaku zonna, bibeere omwo emirembe nʼemirembe.
© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.