1Eddungu nʼensi enkalu birijaguza; Eddungu lirisanyuka ne limeramu ebintu. Ebimuli ebifaanana ngʼejjirikiti
2birimeruka, birijaguza nnyo ne biwowogana nʼessanyu mu ddoboozi eryʼomwanguka. Ekitiibwa kya Lebanooni kirigiweebwa, ekitiibwa kya Kalumeeri ne Saloni; baliraba ekitiibwa kya Mukama, ekitiibwa kya Katonda waffe.
3ⓜ Muzzeemu amaanyi emikono eminafu, nʼamaviivi agajugumira mugagumye.
4Mugambe abo abalina omutima omuti nti, Mubeere nʼamaanyi temutya: laba Katonda wammwe alijja; alibalwanirira, alage abalabe bammwe obusungu obwʼObwakatonda, era alibalokola.
5ⓝ Olwo amaaso gʼabazibe galiraba, era nʼamatu gʼabakiggala galigguka;
6Omulema alibuuka ngʼennangaazi, nʼolulimi lwʼabatayogera luliyimba nʼessanyu. Amazzi galifubutuka ne gakulukutira mu lukoola nʼemigga mu ddungu.
7Nʼomusenyu ogwokya gulifuuka ekidiba, nʼensi eyakala edda nʼetiiriika ensulo ezʼamazzi. Ebibe we byagalamiranga walimera omuddo, nʼessaalu, nʼebitoogo.
8Era eribaayo oluguudo olunene, nʼekkubo, eririyitibwa Ekkubo Ettukuvu. Abatali balongoofu tebaliriyitamu, liriba lyʼabali abalongoofu, kubanga abasirusiru abatali balongoofu tebaliriyitamu.
9Teribaayo mpologoma, so teririnnyayo nsolo yonna nkambwe; tezirirabikayo, naye abanunule balitambulira eyo.
10Nʼabantu ba Mukama abaanunulibwa balikomawo, ne bajja mu Sayuuni nga bayimba, nʼessanyu eritaggwaawo nga libajjudde. Balifuna essanyu lingi nnyo nʼokujaguza, okunakuwala nʼokusinda nga biggweereddewo ddala.