Isaaya 36:1-22 LGCB2014 - Bible AI

1Awo olwatuuka, mu mwaka ogwʼekkumi nʼena ogwʼobufuzi bwa kabaka Keezeekiya, Sennakeribu kabaka wʼe Bwasuli nʼayambuka okulumba ebibuga byonna ebya Yuda ebyali bizimbiddwako bbugwe nʼabiwamba.

2Awo kabaka wʼe Bwasuli nʼasindika Labusake omuduumizi we owʼoku ntikko okuva e Lakisi nʼeggye eddene ayolekere Yerusaalemi ewa kabaka Keezeekiya. Omuduumizi ono nʼasimba amakanda ku mabbali gʼomukutu gwʼamazzi omunene ku luguudo olugenda ku Nnimiro yʼOmwozi wʼEngoye.

3Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya, eyali akulira olubiri, ne Sebuna omuwandiisi, ne Yoswa mutabani wa Asafu eyavunaanyizibwanga ebiwandiiko ne bafuluma okumusisinkana.

4Labusake nʼabagamba nti, “Mugambe Keezeekiya nti, ‘Bwʼati bwʼayogera kabaka omukulu, kabaka wʼe Bwasuli nti, Kiki ddala kye weesiga?

5Olowooza ebigambo obugambo birina amaanyi nʼamagezi okuwangula olutalo. Ani gwe weesiga olyoke onjemere?

6 Laba weesiga Misiri, ogwo omuggo obuggo, olumuli olubetente, oluyinza okufumita engalo zʼomuntu ngʼalwesigamyeko: bwʼatyo Falaawo, ye kabaka wʼe Misiri bwʼayisa bonna abamwesiga.’

7Naye bwʼonoŋŋamba nti, ‘Twesiga Mukama Katonda waffe, si ye yali nannyini byoto nʼebifo ebigulumivu Keezeekiya bye yaggyawo nʼagamba Yuda ne Yerusaalemi nti Mu maaso gʼekyoto kino we munaasinzizanga?’ ”

8“ ‘Kale nno Mukama wange Kabaka wʼe Bwasuli agamba nti, Ajja kukuwa embalaasi enkumi bbiri bwʼobanga ddala olina abanaazeebagala.

9Mu mbeera eyo gyʼolimu oyinza otya okuwangula wadde omuduumizi asembayo obunafu mu gye lyaffe ne bwe weesiga ebigaali nʼembalaasi za Misiri?

10Ate ekirala olowooza nzize okulumba ensi eno nʼokugizikiriza nga Mukama si yʼandagidde? Mukama yaŋŋamba nnumbe ensi eno ngizikirize.’ ”

11 Awo Eriyakimu ne Sebuna ne Yoswa ne bagamba Labusake nti, “Tukwegayiridde yogera nʼabaddu bo mu Lusuuli kubanga tulumanyi, toyogera naffe mu Luyudaaya[26] ngʼabantu abali ku bbugwe bawulira.”

12Naye Labusake nʼayogera nti, “Ebyo ebigambo Mukama wange yantumye kubyogera eri mukama wo nʼeri ggwe mwekka, so si nʼeri abasajja abatudde ku bbugwe abali nga mmwe abagenda okulya obubi bwabwe nʼokunywa omusulo gwabwe?”

13Awo Labusake nʼayimirira nʼayogera mu ddoboozi eryʼomwanguka mu lulimi olwʼAbayudaaya nti, “Muwulire ebigambo bya kabaka omukulu, kabaka wʼe Bwasuli.

14Kabaka agambye bwʼati nti, Temukkiriza Keezeekiya kubalimbalimba tayinza kubawonya.

15Temukkiriza Keezeekiya kubasigula ngʼabagamba nti, ‘Mukama ddala ajja kutununula, ekibuga kino tekijja kugwa mu mukono gwa Bwasuli.’

16“Temuwuliriza Keezeekiya kubanga bwʼati bwʼayogera kabaka wʼe Bwasuli nti, ‘Mutabagane nange mufulume mujje gye ndi, olwo buli muntu ku mmwe lwʼalirya ku muzabbibu gwe na buli muntu ku mutiini gwe, era buli omu alinywa ku mazzi agʼomu kidiba kye,

17okutuusa lwe ndijja ne mbatwalira ddala mu nsi efaanana ensi yammwe, ensi eyʼeŋŋaano ne wayini, ensi eyʼemigaati nʼennimiro ezʼemizabbibu.

18“Mwekuume Keezeekiya aleme okubasendasenda ngʼayogera nti, ‘Mukama alibawonya.’ Waliwo katonda yenna owʼamawanga eyali awonyezza ensi ye mu mukono gwa kabaka wʼe Bwasuli?

19Bali ludda wa bakatonda abʼe Kamasi ne Alupadi? Bali ludda wa bakatonda abʼe Sefarayimu? Baali bawonyezza Samaliya mu mukono gwange?

20 Baani ku bakatonda bonna abʼensi ezo abaali bawonyezza ensi zaabwe mu mukono gwange? Kale Mukama asobola atya okuwonya Yerusaalemi mu mukono gwange?”

21Kyokka bo baasirika busirisi tebaddamu, kubanga kabaka yali alagidde nti, “Temumuddamu.”

22Awo Eriyakimu mutabani wa Kirukiya eyali akulira olubiri ne Sebuna Omuwandiisi ne Yoswa mutabani wa Asafu Omukuumi wʼebiwandiiko, ne baddayo eri Keezeekiya nga bayuzizza engoye zaabwe, ne bamubuulira ebigambo bya Labusake.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>