1
2Nʼatuma Eriyakimu eyali akulira olubiri ne Sebuna omuwandiisi ne bakabona abakulu, nga bambadde ebibukutu, eri nnabbi Isaaya mutabani wa Amozi.
3Ne bamugamba nti, “Keezeekiya atutumye okukugamba nti, Olunaku luno lunaku lwa kulabiramu nnaku era lwa kuvumirwamu era lwa kujoogebwa; kubanga abaana batuuse okuzaalibwa naye nga tewali maanyi ga kubazaala.
4Oboolyawo Mukama Katonda wo anaawulira ebigambo bya Labusake eyatumibwa kabaka wʼe Bwasuli mukama we okuvuma Katonda omulamu, Mukama Katonda wo nʼamunenya olwʼebigambo byʼawulidde: Kale waayo okusaba kwo wegayiririre ekitundu ekikyasigaddewo.”
5Abaddu ba kabaka Keezeekiya bwe bajja eri Isaaya,
6Isaaya nʼabagamba nti, “Mugambe mukama wammwe nti, ‘Bwʼati bwʼagamba Mukama nti, Ebigambo byʼowulidde abaddu ba kabaka wʼe Bwasuli bye banvumye tebikutiisa.
7Laba ndimusindikira omwoyo omubi, awulire olugambo addeyo mu nsi ye. Era eyo gye ndimuzikiririza afe ekitala.’ ”
8Awo Labusake omuduumizi wa Bwasuli bwe yaddayo, nʼasanga kabaka wʼe ngʼalwana ne Libuna: kubanga yawulira nti avudde e Lakisi.
9Ate era kabaka Sennakeribu nʼafuna obubaka nti Tiraaka kabaka wʼe Kuusi azze okumulwanyisa. Bwe yakiwulira nʼasindika ababaka eri Keezeekiya nʼobubaka buno nti,
10“Keezeekiya kabaka wa Yuda mumugambe nti, Katonda wo gwe weesiga takulimbanga ngʼayogera nti, ‘Yerusaalemi tekirigabulwa mu mukono gwa kabaka wʼe Bwasuli.’
11Laba wawulira bakabaka bʼe Bwasuli kye baakola amawanga gonna, ne bagazikiririza ddala. Mwe munaawona?
12Amawanga bakitange ge baasaanyaawo, Gozani, ne Kalani, ne Lezefu nʼabantu ba Adeni abaabanga mu Terasali, bakatonda baago, baabayamba?
13Ali ludda wa kabaka wʼe Kamasi ne kabaka wʼe Alupadi ne kabaka wʼekibuga Sefarayimu oba owʼe Keena, oba owʼe Yiva?”
14Keezeekiya nʼaggya ebbaluwa mu mukono gwʼababaka nʼagisoma: Keezeekiya nʼayambuka mu nnyumba ya Mukama nʼagyanjuluza mu maaso ga Mukama.
15Nʼasaba ne yeegayirira Mukama nga agamba nti,
16
17Otege okutu kwo Ayi Mukama owulire, ozibule amaaso go, Ayi Mukama, olabe: owulire ebigambo byonna ebya Sennakeribu byʼaweerezza okuvuma Katonda omulamu.
18“Mazima ddala Mukama, bakabaka bʼe Bwasuli baazisa amawanga gonna nʼensi zaago,
19ne basuula bakatonda baabwe mu muliro: kubanga tebaali bakatonda, naye mulimu gwa ngalo za bantu, miti na mayinja; kyebaava babazikiriza.
20
21Awo Isaaya mutabani wa Amozi nʼatumira Keezeekiya ngʼayogera nti, “Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, Kubanga onneegayiridde ku bya Sennakeribu kabaka wʼe Bwasuli,
22Kino kye kigambo kye mmwogeddeko:
23
24
25
26
27
28
29
30Awo Isaaya nʼagamba Keezeekiya nti,
31
32
33“Noolwekyo bwʼati bwʼayogera Mukama ku Kabaka wʼe Bwasuli nti,
34
35
36Awo malayika wa Mukama nʼafuluma nʼatta mu lusiisira olwʼAbasuli abantu emitwalo kkumi na munaana mu enkumi ttaano. Abaasigalawo bagenda okuzuukuka enkya nga wonna wajjudde mirambo.
37Awo Sennakeribu kabaka wʼe Bwasuli nʼavaayo nʼaddayo nʼabeera e Nineeve.
38Lumu bwe yali ngʼasinziza mu ssabo lya Nisuloki katonda we, Adulammereki, ne Salezeri batabani be ne bamusalira olukwe ne bamutta: ne baddukira mu nsi ya Alalati. Esaludooni mutabani we nʼamusikira.