Isaaya 38:1-22 LGCB2014 - Bible AI

1 Mu nnaku ezo Keezeekiya nʼalwala nnyo, katono afe. Nnabbi Isaaya mutabani wa Amozi nʼajja gyʼali nʼamugamba nti, “Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, Teekateeka ennyumba yo, kubanga togenda kulama, ogenda kufa.”

2Awo Keezeekiya nʼakyuka nʼatunuulira ekisenge nʼasaba ne yeegayirira Mukama

3 ngʼagamba nti, “Jjukira kaakano, Ayi Mukama, nkwegayiridde, engeri gye natambuliranga mu maaso go nʼamazima nʼomutima ogutuukiridde, ne nkola ebisaanidde mu maaso go.” Era Keezeekiya nʼakaaba nnyo amaziga.

4Awo Ekigambo kya Katonda ne kijja eri Isaaya,

5nga Mukama agamba nti, “Genda ogambe Keezeekiya nti, ‘Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda wa Dawudi kitaawo nti, Mpulidde okusaba kwo, ndabye amaziga go: laba nzija kwongera ku nnaku zo emyaka kkumi nʼettaano.

6Era ndikuwonya ggwe nʼekibuga kino mu mukono gwa kabaka wʼe Bwasuli: Era ndikuuma ekibuga kino.

7“ ‘Era kano ke kabonero kʼonoofuna okuva eri Mukama nti Mukama alikola ekigambo kyʼayogedde.

8Laba nzija kuzza emabega ekisiikirize ebigere kkumi enjuba bwʼeneeba egwa, kyʼeneekola ku madaala kabaka Akazi ge yazimba.’ ” Bwʼetyo enjuba nʼedda emabega ebigere kkumi.

9Awo Keezeekiya Kabaka wa Yuda bwe yassuuka, nʼawandiika ebigambo bino;

10Nayogera nti, “Mu maanyi gʼobulamu bwange mwe nnali ŋŋenda okufiira nnyingire mu miryango gyʼemagombe, nga simazeeyo myaka gyange egisigaddeyo.”

11Ne ndyoka njogera nti, “Sigenda kuddayo kulaba Mukama, mu nsi yʼabalamu. Sikyaddamu kulaba bantu mu nsi abantu mwe babeera.

12Obulamu bwange buzingiddwako ngʼeweema yʼomusumba wʼendiga bwʼenzigibwako. Ngʼolugoye lwe babadde balanga ate ne balusala ku muti kwe babadde balulukira, bwe ntyo bwe nawuliranga emisana nʼekiro nga obulamu bwange obumalirawo ddala.

13Ekiro kyonna nakaabanga olwʼobulumi nga ndi ngʼempologoma gwʼemmenyaamenya amagumba, ekiro nʼemisana nga ndowooza nga Mukama yali amalawo obulamu bwange.

14Nakaabanga ngʼakasanke oba akataayi, nʼempuubaala ngʼenjiibwa, amaaso gange ne ganfuyirira olwʼokutunula mu bbanga eri eggulu. Ne nkaaba nti, Ayi Mukama, nga nnyigirizibwa, nziruukirira.”

14

15Naye ate nga naagamba ki? Yali ayogedde nange nga ye yennyini ye yali akikoze. Nʼatambulanga nʼobwegendereza mu bulumi buno obwʼobulamu bwange.

16Ayi Mukama, olwʼebyo, abantu babeera abalamu, era mu ebyo omwoyo gwange mwe gubeerera omulamu. Omponye, mbeere mulamu.

17Ddala laba okulumwa ennyo bwe ntyo kyali ku lwa bulungi bwange, naye ggwe owonyezza obulamu bwange okugwa mu bunnya obwʼokuzikirira. Kubanga otadde ebibi byange byonna emabega wo.

18Kubanga tewali nʼomu mu nsi yʼabafu ayinza kukutendereza, abafu tebayinza kukusuuta; tebaba na ssuubi mu bwesigwa bwo.

19Akyali omulamu, yʼakutendereza nga nze bwe nkola leero; bakitaabwe bʼabaana babategeeza nga bwʼoli omwesigwa ennyo.

19

20Mukama alindokola, kyetunaavanga tuyimba ne tukuba nʼebivuga ebyʼenkoba ennaku zonna ezʼobulamu bwaffe, mu nnyumba ya Mukama.

21 Isaaya yali agambye nti, “Baddire ekitole kyʼettiini bakisiige ku jjute, liwone.”

22Kubanga Keezeekiya yali abuuzizza nti, “Kabonero ki akalaga nga ndiwona ne ntuuka okulagako mu nnyumba ya Mukama?”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>