1Awo mu nnaku ezo Merodakubaladani mutabani wa Baladani kabaka wʼe Babulooni, nʼaweereza Keezeekiya ebbaluwa nʼekirabo, kubanga yawulira nti yali alwadde naye ngʼawonye.
2Keezeekiya nʼabasanyukira, nʼabalaga ennyumba ye eyʼebintu bye ebyʼomuwendo omungi, effeeza ne zaabu, nʼebyakaloosa, nʼamafuta agʼomuwendo omungi, nʼennyumba yonna eyʼebyokulwanyisa. Byonna ebyali mu bugagga bwe, tewaali kintu mu nnyumba ye newaakubadde mu bwakabaka bwe bwonna Keezeekiya kyʼataabalaga.
3Awo Isaaya nnabbi nʼajja eri kabaka Keezeekiya nʼamubuuza nti, “Abasajja banno bagamba ki? Era bavudde wa okujja gyʼoli?” Keezeekiya nʼamuddamu nti, “Bazze wange, bava mu nsi eyʼewala e Babulooni.”
4Nʼamubuuza nti, “Balabye ki mu nnyumba yo?” Keezeekiya nʼaddamu nti, “Byonna ebiri mu nnyumba yange babirabye, tewali kintu mu byobugagga bwange kye sibalaze.”
5Awo Isaaya nʼagamba Keezeekiya nti, “Wulira Mukama Katonda owʼEggye kyʼagamba,
6Laba, ennaku zijja, byonna ebiri mu nnyumba yo nʼebyo bajjajjaabo bye baaterekanga ebikyaliwo nʼokutuusa leero, lwe biritwalibwa e Babulooni, ne watasigala kintu na kimu, bwʼayogera Mukama.
7
8