Isaaya 4:1-6 LGCB2014 - Bible AI

1Ekiseera ekyo bwe kirituuka abakazi musanvu balyekwata omusajja omu nga boogera nti, Tuyitibwenga erinnya lyo, otuggyeko ekivume. Tunenoonyezanga emmere yaffe era twenoonyeze nʼebyokwambala.

2Ku lunaku luli ettabi lya Mukama Katonda liriba ddungi era lya kitiibwa, era nʼebibala byʼensi biryeyagaza nnyo Abayisirayiri abaasigalawo.

3Era buli alisigala mu Sayuuni na buli alisigala mu Yerusaalemi aliyitibwa mutukuvu, buli muntu alibalirwa mu balamu mu Yerusaalemi.

4Mukama aliggyawo obutali butuukirivu bwʼabakazi ba Sayuuni, era nʼomwoyo ogusala ensonga nʼomwoyo ogwokya, alisangulawo amatondo gʼomusaayi mu Yerusaalemi.

5 Olwo Mukama Katonda atondewo ekire mu budde obwʼemisana, nʼomukka nʼokumasaamasa ngʼomuliro ogwaka ekiro ku kifo kyonna ekyʼolusozi Sayuuni ne ku bantu bonna abakuŋŋaaniddeko; kubanga ku byonna era wonna kunaaba kubikkiddwako ekitiibwa kya Katonda.

6Era kiribeera ekibikka nʼekisiikirize ekiziyiza ebbugumu lyʼemisana, era ekiddukiro omwewogomebwa kibuyaga nʼenkuba.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>