1 Mugumye, mugumye abantu bange, bwʼayogera Katonda wammwe.
2 Muzzeemu Yerusaalemi amaanyi mumubuulire nti, entalo ze ziweddewo, nʼobutali butuukirivu bwe busasuliddwa. Era Mukama amusasudde emirundi ebiri olwʼebibi bye byonna.
3 ⓑ Eddoboozi lyʼoyo ayogera liwulikika ngʼagamba nti, “Muteeketeeke ekkubo lya Mukama mu ddungu, mutereeze oluguudo lwe mu ddungu.
4 ⓒ Buli kiwonvu kirigulumizibwa, na buli lusozi nʼakasozi ne bikkakkanyizibwa. Nʼobukyamu buligololwa, ebifo ebitali bisende ne bitereezebwa.
5 Ekitiibwa kya Mukama kiribikkulwa, ne bonna abalina omubiri balikirabira wamu,
5 kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.”
6 ⓓ Ne mpulira eddoboozi nga ligamba nti, “Yogera mu ddoboozi eryʼomwanguka.”
6 Ne ŋŋamba nti, “Nnaayogera ki?” Ne linziramu nti, gamba nti, “Abantu bonna bali nga muddo, nʼobulungi bwabwe bumala ennaku ntono ngʼebimuli ebyʼomu nnimiro.
7 Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera, omukka gwa Mukama bwe gugufuuwako. Mazima abantu muddo.
8 Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera, naye ekigambo kya Katonda waffe kibeerera emirembe gyonna.”
8
9 Ggwe abuulira Sayuuni ebigambo ebirungi, werinnyire ku lusozi oluwanvu; ggwe abuulira Yerusaalemi ebigambo ebirungi, yimusa eddoboozi lyo nʼamaanyi, liyimuse oyogere, totya. Gamba ebibuga bya Yuda nti, “Laba Katonda wammwe ajja!”
10 ⓔ Laba, Mukama Katonda ajja nʼamaanyi mangi era afuga nʼomukono gwe ogwʼamaanyi agʼekitalo. Laba empeera ye eri mu mukono gwe, buli muntu afune nga bwʼakoze.
11 ⓕ Aliisa ekisibo kye ngʼomusumba, akuŋŋaanya abaana bʼendiga mu mukono gwe nʼabasitula mu kifuba kye, nʼakulembera mpola mpola ezibayonsa.
12 Ani eyali ageze amazzi gʼennyanja mu kibatu kye, nʼapima eggulu nʼoluta, nʼapima enfuufu yʼoku nsi mu kibbo, oba nʼapima ensozi ku minzaani, nʼobusozi ku kipima?
13 ⓖ Ani eyali aluŋŋamizza Omwoyo wa Mukama? Ani ayinza okumuyigiriza nʼamuwa amagezi?
14 Ani gwe yali yeebuuzizzako amuwe ku magezi, era ani eyali amuyigirizza ekkubo ettuufu? Ani eyali amusomesezza ebyʼamagezi nʼamulaga okuyiga, nʼokumanya nʼokutegeera?
15 Laba amawanga gali ngʼettondo eriri mu nsuwa, era ngʼenfuufu ekutte ku minzaani, apima ebizinga ngʼapima olufuufu ku minzaani.
16 Nʼensolo zonna ezʼomu kibira kya Lebanooni tezimala kubeera kiweebwayo eri Katonda waffe, nʼemiti gyamu gyonna mitono nnyo tegisobola kuvaamu nku zimala.
17 Amawanga gonna agʼomu nsi gabalibwa mu maaso ge, gyʼali gabalibwa nga si kintu nʼakamu.
17
18 ⓗ Kale ani gwe mulifaananya Katonda? Oba kifaananyi ki kye mulimugeraageranyizaako?
19 Ekifaananyi ekyole omukozi akifumba, nʼomuweesi wa zaabu nʼakibikkako zaabu, nʼakibikkako nʼemikuufu egya ffeeza.
20 Oyo omwavu atasobola kufuna ffeeza oba zaabu afuna omuti omugumu ogutavunda ne yenoonyeza omukozi omugezigezi okusimba nʼokunyweza ekifaananyi ekyole.
21 Temunnamanya, temunnawulira, temubuulirwanga okuva ku kutondebwa kwʼensi?
22 Katonda atuula ku nsi enneekulungirivu, era gyʼali abantu bali ngʼamayanzi. Atimba eggulu ngʼolutimbe era alibamba ngʼeweema eyʼokubeeramu.
23 Afuula abafuzi obutaba kintu, afuula nʼabalamuzi mu nsi okuba ekitaliimu.
24 Bali ngʼebisimbe ebyakamera biba bya kasimbibwa, biba byakasigibwa, biba byakaleeta emirandira, nga abifuuwa nga biwotoka, ngʼembuyaga ebitwalira ddala ngʼebisasiro.
25 “Kale mulinfaananya ani, ani gwe mulinnenkanya?” bwʼayogera Omutukuvu.
26 Muyimuse amaaso gammwe mulabe ebiri ku ggulu. Ani eyatonda ebyo byonna? Oyo afulumya ebyaka ebyʼomu bbanga afulumya kina kimu, byonna nga bwe biri, nʼabiyita amannya gaabyo. Olwʼobukulu bwʼobuyinza bwe era kubanga wamaanyi ga nsusso, tewali na kimu kibulako.
27 Lwaki ogamba ggwe Yakobo era ne wemulugunya ggwe Isirayiri nti, “Mukama tamanyi mitawaana gye mpitamu, era tafaayo nga tuggyibwako eddembe lyaffe eryʼobwebange”?
28 Tonnamanya? Tonnawulira? Mukama, ye Katonda ataliggwaawo. Omutonzi wʼenkomerero yʼensi. Tazirika so takoowa era nʼamagezi ge tewali nʼomu ayinza kugapima.
29 Awa amaanyi abazirika, nʼoyo atalina buyinza amwongerako amaanyi.
30 Abavubuka bazirika, bakoowa, nʼabalenzi bagwira ddala.
31 Naye abo abalindirira Mukama baliddamu buggya amaanyi gaabwe, balitumbiira nʼebiwaawaatiro ngʼempungu; balidduka mbiro ne batakoowa, balitambula naye ne batazirika.
© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.