1“Musirike mumpulirize mmwe ebizinga, amawanga gaddemu amaanyi. Mwetegeke okuleeta emisango gyammwe mu mbuga mujja kufuna obwogerero. Tukuŋŋaane tulabeko omutuufu.
2Ani eyayita omuweereza we okuva mu buvanjuba, eyamuyita akole emirimu gye amuweereze mu butuukirivu? Ani eyamuwa obuwanguzi ku bakabaka ne ku mawanga, nʼabafuula ngʼenfuufu nʼekitala kye, obusaale bwe ne bubafuula ebisasiro ebitwalibwa empewo?
3Nʼagenda ngʼabagoba embiro nʼayita bulungi mu makubo ebigere bye gye byʼali bitayitanga.
4Ani eyakola kino ngʼayita emirembe gyʼabantu okuva ku lubereberye? Nze Mukama owʼolubereberye era owʼenkomerero, nze wuuyo.”
5Ebizinga byʼalaba ne bitya; nʼensi yonna nʼekankana: baasembera kumpi ne batuuka.
6Buli muntu yayamba muliraanwa we ngʼagamba nti; “Guma omwoyo!”
7Awo omubazzi nʼagumya omuweesi wa zaabu omwoyo, nʼoyo ayooyoota nʼakayondo nʼagumya oyo akuba ku luyijja ngʼayogera ku kyuma ekigatta nti, “Nga kirungi,” era ne bakikomerera nʼemisumaali kireme okusagaasagana.
8ⓘ “Naye ggwe Isirayiri omuweereza wange, Yakobo gwe nalonda, ezzadde lya Ibulayimu mukwano gwange,
9ggwe, gwe naggya ku nkomerero yʼensi ne nkuyita okuva mu bitundu byʼensi ebikomererayo ddala, ne nkugamba nti, ‘Oli muddu wange,’ nze nakulonda so sikusuulanga:
10ⓙ Totya kubanga nze ndi wamu naawe; tokeŋŋentererwa, kubanga nze Katonda wo. Nnaakuwanga amaanyi. Wewaawo nnaakuyambanga nʼomukono ogwa ddyo ogwʼobutuukirivu bwange.”
11“Laba, abo bonna abakukambuwalidde balikwatibwa ensonyi ne balaba ennaku. Abo abakuwakanya balifuuka ekitagasa ne baggwaawo.
12Olibanoonya abo abaakukijjanyanga naye nʼotobalaba. Abo abaakulwanyisanga baliggwaamu ensa.
13Kubanga nze Mukama Katonda wo akukwata ku mukono ogwa ddyo, nze nkugamba nti, Totya nze nzija kukuyamba.
14Wadde ngʼoli lusiriŋŋanyi totya, ggwe Isirayiri, kubanga nnaakuyamba,” bwʼayogera Mukama Omununuzi wo, Omutukuvu wa Isirayiri.
15“Laba ndikufuula ngʼekyuma ekiggya ekisala ennyo, ekyogi ekyʼamannyo amangi. Muliwuula ensozi ne muzimementulira ddala, obusozi ne mubufuula ebisusunku.
16ⓚ Oliziwewa empewo nʼezifuumula, embuyaga ezifuumuka zizisaasaanye. Era naawe olisanyukira mu Mukama, era mu Mutukuvu wa Isirayiri mwʼolyenyumiririza.”
17“Abaavu nʼabali mu bwetaavu bwe baneetaganga amazzi ne baganoonya naye ne gababula, ate nga ennimi zaabwe zikaze, nze Mukama ndibawulira, nze Katonda wa Isirayiri siribaleka.
18ⓛ Ndikola emigga ku busozi obutaliiko kantu, era nʼensulo wakati mu biwonvu. Olukoola ndirufuula ennyanja, nʼeddungu lirivaamu enzizi zʼamazzi.
19Ndisimba mu lukoola omuvule ne akasiya, omumwanyi nʼomuzeyituuni, ate nsimbe mu ddungu enfugo nʼomuyovu awamu ne namukago.
20ⓜ Abantu balyoke balabe bamanye, balowooze era batuuke bonna okutegeera nti omukono gwa Mukama gwe gukoze kino, nti Omutukuvu wa Isirayiri yakikoze.”
21Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda gye muli mmwe nti, “Mmwe bakatonda baamawanga, mujje nammwe mwogere. Muleete ensonga zammwe tuziwulire,” bwʼayogera Kabaka wa Yakobo.
22“Baleete bakatonda bwabwe batubuulire ebigenda okubaawo. Batubuulire nʼebyaliwo emabega, tusobole okubimanya, nʼokubirowoozaako nʼokumanya ebinaavaamu oba okutubuulira ebigenda okujja.
23Mutubuulire ebigenda okubaawo tulyoke tumanye nga muli bakatonda. Mubeeko kye mukola ekirungi oba ekibi tulyoke tutye era tukeŋŋentererwe mu mutima.
24Laba, temuliiko bwe muli ne bye mukola tebigasa. Abo ababasinza bennyamiza.
25Nonze omuntu alifuluma mu bukiikakkono akoowoola erinnya lyange, abeera mu buvanjuba. Alirinnyirira abafuzi ngʼasamba ettaka, abe ngʼomubumbi asamba ebbumba.
26Ani eyakyogera nti kiribeerawo tulyoke tumanye, eyakyogera edda tulyoke tugambe nti, ‘Wali mutuufu?’ Tewali nʼomu yakyogerako, tewali nʼomu yakimanya era tewali nʼomu yawulira kigambo na kimu okuva gye muli.
27Nasooka okubuulira Sayuuni era ne mpeereza omubaka e Yerusaalemi ababuulire amawulire amalungi.
28Naye tewali nʼomu mu bakatonda bammwe eyabategeeza kino. Tewali nʼomu awa bigambo biruŋŋamya, tewali nʼomu addamu bwe mbuuza.
29Laba, bonna temuli nsa! Bye bakola byonna tebigasa. Ebifaananyi byabwe byonna ebibajje, mpewo na butaliimu.”