1ⓝ Laba omuweereza wange gwe mpanirira, omulonde wange gwe nsanyukira ennyo. Ndimuwa Omwoyo wange era alireeta obwenkanya eri amawanga.
2Talireekaana wadde okuyimusa eddoboozi lye mu luguudo.
3ⓞ Talimenya lumuli lubetentefu oba okuzikiza olutambi olwaka empola ennyo; mu bwesigwa alireeta obwenkanya.
4Taliremererwa oba okuggwaamu essuubi okutuusa ngʼaleesewo obutebenkevu ku nsi. Nʼebizinga ebyʼewala biririndirira amateeka ge.
4
5ⓟ Bwʼatyo bwʼayogera Mukama Katonda, eyatonda eggulu nʼalibamba. Eyayanjuluza ensi ne byonna ebigivaamu; awa omukka abantu baakwo era nʼobulamu eri bonna abagitambulirako.
6ⓠ “Nze Mukama, nakuyita mu butuukirivu. Ndikukwata ku mukono era ndikukuuma. Ndikufuula okuba endagaano eri abantu, era omusana eri bannamawanga.
7Okuzibula amaaso gʼabazibe, okuta abasibe okuva mu makomera nʼokuggya abo abali mu bunnya, abo abali mu kizikiza.
7
8“Nze Mukama, eryo lye linnya lyange, nʼekitiibwa kyange sirikiwa mulala, newaakubadde ettendo lyange okukiwa bakatonda abalala.
9Laba, ebyo bye nagamba nti biribaawo bituuse, kaakano mbabuulira ku bigenda okujja; mbibategeeza nga tebinnabaawo.”
10Muyimbire Mukama oluyimba oluggya, ettendo lye okuva ku nkomerero yʼensi! Mmwe abasaabala ku nnyanja ne byonna ebigirimu, mmwe ebizinga ne bonna ababibeeramu.
11Leka eddungu nʼebibuga byamu biyimuse amaloboozi gaabyo, ebyalo Kedali mwʼatuula. Leka abantu bʼe Seera bayimbe nʼessanyu. Leka baleekaanire waggulu ku ntikko zʼensozi.
12Leka Mukama bamuwe ekitiibwa era balangirire ettendo lye mu bizinga.
13Mukama, anafuluma okulwana ngʼomutabaazi owʼamaanyi, era ngʼomutabaazi owʼamaanyi alijja yeeswanta, nʼokuleekaana ngʼalangirira olutalo. Era aliwangula abalabe be.
13
14“Ebbanga ggwanvu nga siriiko kye ŋŋamba, nga nsirise neekuumye. Naye okufaanana ngʼomukazi alumwa okuzaala, nkaaba, mpejjawejja era nzisa ebikkowe.
15Ndizikiriza ensozi nʼobusozi, egyo emiddo gyakwo gyonna ndi wakugiwotosa. Era ndikaza ebinywa byabwe byonna nʼemigga ndigifuula ebizinga.
16Era ndikulembera abantu bange abazibe ba maaso mu kkubo lye batamanyi nʼabayise mbaluŋŋamize mu makubo ge batamanyidde. Ndifuula ekizikiza okuba omusana mu maaso gaabwe nʼebifo ebizibu okuyitamu ndibirongoosa. Ebyo byʼebintu bye ndikola, sirireka bantu bange.
17ⓡ Naye abo abeesiga bakatonda abalala, ababagamba nti, ‘Mwe bakatonda baffe,’ balikwasibwa ensonyi, era baligobebwa, mu buswavu obungi.”
18“Muwulire mmwe bakiggala, mutunule mmwe bamuzibe, mulabe.
19Ani muzibe okuggyako omuweereza wange, oba kiggala okuggyako omubaka wange gwe ntuma? Eriyo eyaziba amaaso asinga oyo eyeewaayo gye ndi, oba omuzibe ngʼomuweereza wa Mukama?
20Olabye ebintu bingi naye tobifuddeko, amatu go maggule naye tolina kyʼowulira.”
21Kyasanyusa Mukama olwʼobulungi obwʼobutuukirivu bwe okukuza amateeka ge nʼokugassaamu ekitiibwa.
22Naye bano, bantu be, ababbibwa ne banyagibwa bonna ne basibibwa mu binnya oba abasibibwa mu makomera. Bafuuka munyago nga tewali nʼomu abanunula, bafuuliddwa abanyage nga tewali nʼomu agamba nti, “Bateebwe baddeyo.”
23Ani ku mmwe anaawuliriza kino, oba anaafaayo ennyo nʼawuliriza mu biro ebigenda okujja?
24Ani eyawaayo Yakobo okuba omunyago ne Isirayiri eri abanyazi? Teyali Mukama gwe twayonoona? Ekyo yakikola kubanga tebaagoberera makubo ge. Tebaagondera mateeka ge.
25Kyeyava abafukako obusungu bwe obubuubuuka nʼobulumi bwʼentalo. Beebungululwa ennimi zʼomuliro naye tebaategeera. Gwabookya naye ne batakissaako mwoyo.