Isaaya 43:1-28 LGCB2014 - Bible AI

1Naye kaakano bwʼatyo bwʼayogera Mukama oyo eyakutonda, ggwe Yakobo, eyakukola ggwe Isirayiri: “Totya kubanga nkununudde, nakuyita nga mpitira ddala erinnya lyo, oli wange.

2 Bwʼonooyitanga mu mazzi amawanvu nnaabeeranga naawe, ne bwʼonooyitanga mu migga tegirikusaanyaawo; bwʼonooyitanga mu muliro tegukwokyenga, ennimi zʼomuliro tezirikwokya.

3Kubanga nze Mukama Katonda wo, Katonda Omutukuvu owa Isirayiri; Omulokozi wo. Mpayo Misiri ggwe osobole okuteebwa, era Kuusi ne Seba mbiwaayo gwe ofune emirembe gyo.

4Kubanga oli wa muwendo gye ndi, owʼekitiibwa, era kubanga nkwagala, ndiwaayo abasajja ku lulwo mpeeyo nʼabantu ku lwʼobulamu bwo.

5Totya, kubanga nze ndi nawe, ndireeta ezzadde lyo okuva ebuvanjuba era nkukuŋŋaanye okuva ebugwanjuba.

6Ndigamba obukiikakkono nti, ‘Waayo bʼolina,’ nʼobukiikaddyo nti, ‘Tobagaanira.’ Leeta batabani bange okuva ewala ne bawala bange okuva ku nkomerero yʼensi.

7Buli muntu yenna ayitibwa erinnya lyange, gwe natonda olwʼekitiibwa kyange, gwe nakola gwe natonda.”

8Fulumya abo abalina amaaso naye nga tebalaba, abalina amatu naye nga tebawulira.

9Amawanga gonna ka gakuŋŋaane nʼabantu bajje. Ani ku bo eyali ayogedde ku bintu bino? Ani ku bo eyali alangiridde ebyaliwo? Leka baleete abajulizi okukakasa nti baali batuufu abawulira bagambe nti, “Ddala bwe kiri.”

10“Muli bajulirwa bange,” bwʼayogera Mukama, “omuweereza wange gwe nalonda: mulyoke mummanye, munzikirize, mutegeere nga Nze wuuyo: Tewali Katonda eyansooka era teriba mulala alinzirira.

11 Nze, Nze mwene, nze Mukama; okuggyako nze tewali Mulokozi.

12Nze naleeta okwolesebwa ne nangirira ne ndokola; nze so si katonda mulala mugwira mu mmwe. Muli bajulirwa bange,” bwʼayogera Mukama.

13“Weewaawo, okuva mu nnaku ezʼedda Nze Nzuuyo; tewali nʼomu ayinza okuwonya omuntu mu mukono gwange. Kye nkola ani ayinza okukikyusa?”

14Bwʼati bwʼayogera Mukama, Omununuzi wammwe, Omutukuvu wa Isirayiri nti, “Ku lwammwe nditumya e Babulooni, ndeetere abʼe Babulooni bonna nga bawambe mu byombo ebyabeewanya.

15Nze Mukama, Omutukuvu wammwe, Omutonzi wa Isirayiri, Kabaka wammwe.”

15

16 “Bwʼati bwʼayogera Mukama, oyo eyakola ekkubo mu nnyanja, nʼoluguudo mu mazzi amangi ennyo,

17eyaleetera amagaali, nʼembalaasi nʼeggye, nʼabaali bazze okubayamba, byonna awamu okugwa omwo, ne bitaddamu kusituka, nga bizikiridde, nga bikomye ngʼakatambi akabadde kaaka.

18Mwerabire ebyʼemabega, so temulowooza ku byʼayita.

19Laba, nkola ekintu ekiggya! Kaakano kitandise okulabika, temukiraba? Nkola oluguudo mu ddungu nʼendeeta emigga mu lukoola.

20Ensolo ezʼomu nsiko zinzisaamu ekitiibwa, ebibe nʼebiwuugulu; kubanga nze ngaba amazzi mu ddungu, nʼemigga mu lukoola, okunywesa abantu bange, abalonde bange,

21abantu be nnekolera balangirire ettendo lyange.

22So tonkowodde ggwe, Yakobo, era teweekooyeza ggwe Isirayiri.

23Tondeetedde ndiga eyʼebiweebwayo ebyokebwa, wadde okunzisaamu ekitiibwa ne ssaddaaka zo. Sikukaluubirizanga nga nkusaba ebiweebwayo ebyempeke wadde okukukooya nʼobubaane.

24Tondeeteddeeyo bubaane buwunya kawoowo wadde okunzikusa nʼamasavu ga ssaddaaka zo, naye onkoyesezza nʼebibi byo, era nʼonteganya nʼobutali butuukirivu bwo.”

24

25“Nze, Nze mwene, nze wuuyo asangula ebyonoono byo ku lwange nze, so sirijjukira bibi byo.

26Nzijukiza ebyʼedda, tuwoze ffembi, jjangu ensonga tuzoogereko fembi, yogera ebiraga nga toliiko musango.

27Kitaawo eyasooka yasobya, abakulembeze bo baanjemera.

28Kyendiva ndiswaza abakungu ba yeekaalu yo, era ndiwaayo Yakobo azikirizibwe ne Isirayiri aswazibwe.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>