1Naye kaakano ggwe Yakobo omuweereza wange, wuliriza, ggwe Isirayiri gwe nalonda.
2Bwʼati bwʼayogera Mukama oyo, eyakutonda era eyakubumba mu lubuto, ajja kukuyamba. “Totya ggwe Yakobo,[28] omuweereza wange, ggwe Yesuruni gwe nalonda.
3Kubanga ndifuka amazzi ku ttaka eririna ennyonta nʼenzizi ku ttaka ekkalu. Ndifuka Omwoyo wange ku zadde lyo, era nʼomukisa gwange ku bazzukulu bo.
4Era balimera ngʼomuddo ku mabbali gʼenzizi, babe ngʼemiti egiri ku mabbali gʼemigga.
5Omu aligamba nti, ‘Nze ndi wa Mukama,’ nʼomulala ne yeeyita erinnya lya Yakobo, nʼomulala ne yeewandiikako nti, ‘Wa Mukama,’ ne yeetuuma Isirayiri.”
6ⓥ Bwʼati bwʼayogera Mukama kabaka wa Isirayiri era Omununuzi we, Mukama Katonda owʼEggye: “Nze wʼolubereberye era nze nkomererayo era tewali Katonda mulala we ndi.
7Ani afaanana nga nze, akirangirire, eyali asobola okumanya nʼalangirira ebigenda okubaawo okuviira ddala ku ntandikwa? Leka batubuulire ebigenda okubaawo.
8Temutya wadde okuggwaamu amaanyi. Saakirangirira ne ntegeeza ebigenda okujja? Mmwe bajulirwa bange. Eriyo Katonda omulala okuggyako nze? Nedda. Tewali Lwazi lulala, sirina lwe mmanyi.”
9Abo abakola bakatonda abakole nʼemikono tebaliimu nsa, era ebyo bye basanyukira okukola tebirina kye bigasa. Abajulirwa baabwe tebalaba so tebalina kye bamanyi, balyoke bakwatibwe ensonyi.
10Ani akola Katonda omubajje oba asaanuusa ekifaananyi ekyole ekitaliiko kye kiyamba?
11Laba ye ne banne balikwatibwa ensonyi. Nʼababazzi nabo bantu buntu. Leka bonna bakuŋŋaane, banjolekere; balikwatibwa ensonyi nʼentiisa. Ensonyi ziribatta bonna era bagwemu entiisa.
11
12Omuweesi akwata ekitundu kyʼekyuma nʼakiyisa mu manda, agaliko omuliro. Akikolako nʼakitereeza nʼennyondo mu maanyi ge. Enjala emuluma, nʼaggwaamu amaanyi, tanywa mazzi era akoowa.
13Omubazzi akozesa olukoba okupima olubaawo era nʼalamba nʼekkalaamu. Akinyiriza ne landa, nʼakiramba kyonna nʼekyuma ekigera, nʼakikolamu ekifaananyi kyʼomuntu ngʼomuntu bwʼafaanana, kiryoke kiteekebwe mu nnyumba.
14Atema emivule oba nʼaddira enzo oba omuyovu nʼagusimba oba nʼaguleka gukule nʼemiti mu kibira, oba nʼasimba enkanaga, enkuba nʼegikuza.
15Abantu bagukozesa ngʼenku, ezimu nʼazitwala nʼazikozesa okukuma omuliro ne yeebugumya. Akuma omuliro nʼafumba emigaati. Naye ekitundu ekirala akikolamu katonda nʼamusinza, akola ekifaananyi ekikole nʼemikono nʼakivuunamira.
16Ekitundu kyʼolubaawo akyokya mu muliro, ekitundu ekirala akyokesa ennyama nʼagirya nʼakutta. Ayotako nʼabuguma nga bwʼagamba nti, “Mbugumye, omuliro ngutegedde!”
17Ekitundu ekisigaddewo akikolamu katonda, ekifaananyi ekikole nʼemikono, era nʼakivuunamira nʼakisinza nʼakyegayirira nʼagamba nti “Mponya, kubanga ggwe katonda wange.”
18Tebaliiko kye bamanyi so tebaliiko kye bategeera, amaaso gaabwe gazibye nʼokuyinza ne batayinza kulaba, nʼokutegeera ne batayinza kutegeera.
19Tewali nʼomu ayimirira nʼalowooza, tewali nʼomu amanyi wadde ategeera okugamba nti, “Ekimu ekyokubiri ekyakwo nkyokezza mu muliro, era ne nfumba nʼobugaati ku manda gaakyo, njokezzaako nʼennyama nʼengirya. Ekitundu kyakyo kifuuse ekyʼomuzizo? Nvuunamire ekisiki kyʼomuti?”
20Alya vvu. Omutima gwe gumulimbalimba, tasobola kwerokola wadde okwebuuza nti, “Kino ekiri mu mukono gwange ogwa ddyo si bulimba?”
21“Jjukira ebintu bino, ggwe Yakobo; oli muweereza wange ggwe Isirayiri. Nze nakubumba, oli muweereza wange, ggwe Isirayiri sirikwerabira.
22Ebyonoono byo mbyezeewo nʼembisenda ngʼekire, nʼebibi byo ne mbyerawo ngʼolufu olwʼomu makya. Komawo gye ndi kubanga nakununula.
23Yimba nʼessanyu ggwe eggulu kubanga ekyo Mukama yakikoze. Muleekaane nʼessanyu mmwe abali wansi ku nsi. Muyimbe mmwe ensozi, mmwe ebibira na buli muti ogulimu. Mukama anunudde Yakobo era yeegulumiriza mu Isirayiri.”
24Bwʼati bwʼayogera Mukama Omulokozi wo, eyakutondera mu lubuto.
24“Nze Mukama, eyatonda ebintu byonna, eyabamba eggulu nzekka, eyayanjuluza ensi obwomu,
25ⓦ asazaamu abalaguzi bye balagudde era abalogo abafuula abasirusiru. Asaabulula ebyʼabagezi nʼafuula bye balowoozezza okuba ebyʼobusirusiru.
26Anyweza ekigambo kyʼomuweereza we nʼatuukiriza obubaka bwa babaka bange. Ayogera ku Yerusaalemi nti, ‘Kirituulibwamu,’ ne ku bibuga bya Yuda nti, ‘Birizimbibwa,’ ne ku bifo ebyazika nti, ‘Ndibizzaawo.’
27Agamba amazzi gʼobuziba bwe nnyanja nti, ‘Kalira, era ndikaliza emigga gyo.’
28ⓧ Ayogera ku Kuulo nti, ‘Musumba wange era alituukiriza bye njagala byonna.’ Alyogera ku Yerusaalemi nti, ‘Kizimbibwe,’ ne ku yeekaalu nti, ‘Emisingi gyayo gizimbibwe.’ ”