Isaaya 46:1-13 LGCB2014 - Bible AI

1Beri avunnama, Nebo akutamye! Ebifaananyi bya bakatonda baabwe biteekeddwa ku nsolo ezʼomu nsiko, era ne ku nte. Ebifaananyi bya bakatonda baabwe migugu mizito ddala ku ndogoyi ezikooye.

2Bikutamye byonna bivuunamye. Tebiyinza kuyamba ku mbeera, byo byennyini bitwaliddwa mu busibe.

3“Mumpulire mmwe, ennyumba ya Yakobo nʼabantu bonna abasigaddewo mu nnyumba ya Isirayiri. Mmwe be nnalera okuva lwe mwava mu lubuto, be nasitula okuva lwe mwazaalibwa.

4 Ne mu bukadde bwammwe nzija kusigala nga ye nze Nzuuyo. Ne bwe muliba mulina envi nnaabasitulanga. Nze nabakola era nze nnaabawekanga. Nnaabasitulanga era nnaabanunulanga.

4

5“Ani gwe mulinfaananya era gwe mulinnenkanya era gwe mulingerageranyaako tufaanane?

6Eriyo abaggya zaabu ennyingi mu nsawo zaabwe ne bapima ne ffeeza ku minzaani. Olwo ne bapangisa omuweesi wa zaabu nʼagiweesaamu katonda waabwe, ne bagwa wansi ne basinza.

7 Katonda waabwe ne bamusitulira ku kibegabega, ne bamuwa ekifo wʼanaayimiriranga. Nʼayimirira awo, nʼatava mu kifo kye. Oli ne bwʼamukaabirira tayinza kumuddamu, tayinza kumuwonya mu mitawaana gye.

7

8“Mujjukire kino mmwe, mulowooze mu mitima gyammwe. Mwekube mu kifuba, mmwe abajeemu.

9Mujjukire ebigambo ebyasooka ebyʼedda ennyo. Kubanga nze Katonda, teri mulala. Nze Katonda, teri ali nga nze;

10 alanga ku ntandikwa ebigenda okubaawo. Okuva ku mirembe egyʼedda ennyo, nalanga ebintu ebitannabaawo, nga ŋŋamba nti, ‘Enteekateeka zange zijja kubaawo era ndituukiriza byonna bye nategeka.’

11Mpita ekinyonyi ekikwakkula ebiramu ebirala. Omusajja[29] ava e buvanjuba mu nsi eyewala, anaakola bye njagala. Weewaawo njogedde era nnaatuukiriza. Nga bwe nategeka bwe nnaakola.

12Mumpulirize mmwe abalina emitima emikakanyavu, abakyama ennyo ne bava mu kkubo lyʼobutuukirivu.

13Nsembeza kumpi obutuukirivu bwange, tebuli wala. Nʼobulokozi bwange tebuulwewo. Ndireeta obulokozi mu Sayuuni, ne nzizaawo ekitiibwa kyange mu Isirayiri.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>