Isaaya 47:1-15 LGCB2014 - Bible AI

1 “Omuwala wa Babulooni embeerera, kakkana wansi otuule mu nfuufu, tuula wansi awatali ntebe ya bwakabaka, ggwe omuwala wʼAbakaludaaya. Ekibuga ekitawangulwangako. Toliddayo nate kuyitibwa kyatika oba nnalulungi.

2Ddira olubengo ose obutta. Ggyako akatimba ku maaso, situla ku ngoye zʼoku magulu oyite mu mazzi.

3Obwereere bwo bulibikkulwa; obusungu bwo bulyeraga. Nzija kuwoolera eggwanga; tewali muntu yenna gwe ndirekawo.”

4Omununuzi waffe Mukama Katonda owʼEggye lye linnya lye, ye Mutukuvu wa Isirayiri.

4

5“Tuula mu kasirise yingira mu kizikiza ggwe omuwala wʼAbakaludaaya, tebakyakuyita kabaka omukazi afuga obwakabaka obungi.

6Nnali nsunguwalidde abantu bange, ne nyonoonesa omugabo gwange. Nabawaayo mu mikono gyo, nʼotobasaasira nʼakatono. Nʼabakadde wabateekako ekikoligo ekinene ennyo.

7Wayogera nti, ‘Nzija kubeera kabaka omukazi emirembe gyonna,’ naye nʼotolowooza ku bintu bino wadde okulowooza ku kyali kigenda okubaawo.”

7

8 “Kale nno kaakano wuliriza kino, ggwe awoomerwa amasanyu ggwe ateredde mu mirembe gyo, ngʼoyogera mu mutima gwo nti, ‘Nze ndiwo era tewali mulala wabula nze. Siribeera nnamwandu wadde okufiirwa abaana.’

9Ebintu bino byombi birikutuukako mangu nnyo mu lunaku lumu, ekyʼokufiirwa abaana nʼokufuuka nnamwandu. Birikutuukako mu kigera kyabyo ekituufu, newaakubadde obulogo bwo nga bungi okuyitirira, nʼebyʼobufumu byo nga bigenze wala.

10Weesiga obutali butuukirivu bwo, nʼolowooza nti, ‘Siriiko annondoola.’ Amagezi go era nʼokumanya kwo byakuwabya, bwe wayogera nti, ‘Nze ndiwo, era teri mulala wabula nze.’

11 Kyokka ensasagge erikujjira era tolimanya ngeri yakugyeggyako; nʼokuzikirira kwʼotoliyinza kweggyako na muwendo gwa nsimbi; akabi kʼotolirabirawo kalikutuukako amangu ddala.”

11

12“Weeyongere nno nʼobulogo bwo nʼobufumu bwo obwayinga obungi, bwe wanyiikiriramu okuva mu buto bwo. Oboolyawo olibaako kyoggyamu, oboolyawo olikolawo ekyobulabe.

13Amagezi ago gʼofuna gakukooya bukooya. Abalagulira ku munyeenye basembera, nʼabo abakebera emmunyeenye, era aboogera ebiribaawo buli mwezi, babadduukirire mu bigenda okubatuukako.

14 Laba, bali ngʼebisusunku era omuliro gulibookya! Tebalyewonya maanyi ga muliro. Tewaliiwo manda ga kukubugumya wadde omuliro ogwʼokwota!

15Ekyo kye bayinza okukukolera kyokka; bʼobonyeebonye nabo bʼoteganidde okuva mu buto bwo. Buli muntu alikwata ekkubo lye nga yeeyongera okukola ebibi bye era tewali nʼomu ayinza okukulokola.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>