1 ⓗ “Muwulire kino, mmwe ennyumba ya Yakobo, abayitibwa erinnya lya Isirayiri, era abaava mu nda ya Yuda. Mmwe abalayirira mu linnya lya Mukama, era abaatula Katonda wa Isirayiri, naye si mu mazima wadde mu butuukirivu.
2 Kubanga beeyita abʼekibuga ekitukuvu, abeesiga Katonda wa Isirayiri, Mukama Katonda owʼEggye lye linnya lye.
3 Okuva ku ntandikwa, nayasanguza ebyali bigenda okubaawo; byava mu kamwa kange ne mbyogera. Amangwago ne tubikola ne bituukirira.”
4 Kubanga namanya obukakanyavu bwammwe; ebinywa byʼensingo nga bikakanyavu ngʼekyuma; ekyenyi ngʼekikomo.
5 ⓘ Nabamanyisizaawo edda ebyali bigenda okujja nga tebinnabaawo, muleme kugamba nti, “Bakatonda bange be baabikola: Ekifaananyi kyange ekyole nʼekifaananyi ekisaanuuse bye byakikola.”
6 Mulabe ebintu bino nabibagamba dda, era temubikkirize?
6 “Okuva leero nzija kubabuulira ku bintu ebiggya ebigenda okujja, ebyʼekyama bye mutawulirangako.
7 Mbikola kaakano, so si ekiseera ekyayita: mwali temubiwulirangako mu biseera ebyʼemabega si kulwa nga mugamba nti, ‘Laba nnali mbimanyi.’
8 Towulirangako wadde okutegeera. Okuva edda nʼedda okutu kwo tekuggukanga. Kubanga namanya nti wali kyewaggula, okuva ku kuzaalibwa kwo wayitibwa mujeemu.
9 ⓙ Olwʼerinnya lyange ndwawo okusunguwala. Olwʼettendo lyange ndwawo okukusunguwalira nneme okukuzikiriza.
10 Laba nkugezesezza naye si nga ffeeza. Nkugezesezza mu kirombe kyʼokubonaabona.
11 Ku lwange nze, ku lwange nze ndikikola. Erinnya lyange nga livumiddwa. Ekitiibwa kyange sirikiwa mulala.”
12 ⓚ “Mpuliriza ggwe Yakobo. Isirayiri gwe nalonda. Nze Nzuuyo. Nze owʼolubereberye era nze owʼenkomerero.
13 Omukono gwange gwe gwateekawo omusingi gwʼensi, era omukono gwange ogwa ddyo ne gwanjuluza eggulu. Bwe mbiyita byombi bijja.”
13
14 “Mwekuŋŋaanye mwenna mujje muwulire! Ani ku bo eyali alangiridde ebintu bino? Mukama amwagala; ajja kutuukiriza ekigendererwa kye e Babulooni, era omukono gwe gwolekere Abakaludaaya.[30]
15 Nze; Nze nzennyini nze njogedde. Nze namuyita. Ndimuleeta era alituukiriza omulimu gwe.”
16 Munsemberere muwulirize bino. Okuva ku lubereberye saayogera mu kyama. Nze mbaddewo okuviira ddala ku ntandikwa. Era kaakano Mukama Ayinzabyonna nʼOmwoyo we antumye.
17 Bwʼatyo bwʼayogera Mukama, Omununuzi wammwe, Omutukuvu wa Isirayiri nti, “Nze Mukama Katonda wo akuyigiriza okukulaakulana, akukulembera mu kkubo lyʼoteekwa okutambuliramu.
18 Singa kale wali owulirizza ebiragiro byange! Wandibadde nʼemirembe egikulukuta ngʼomugga! Era nʼobutuukirivu bwo ngʼamayengo gʼennyanja,
19 ezzadde lyo lyandibadde ngʼomusenyu abaana bo ngʼobuweke bwagwo. Erinnya lyabwe teryandivuddewo wadde okuzikirira nga wendi.”
19
20 ⓛ Muve mu Babulooni, mudduke Abakaludaaya. Mugende nga mutegeeza amawulire gano nʼessanyu. Mugalangirire wonna wonna nʼokutuusa ku nkomerero yʼensi. Mugambe nti, “Mukama anunudde omuddu we Yakobo!”
21 So tebaalumwa nnyonta bwe yabayisa mu malungu. Yabakulukusiza amazzi mu lwazi: yayasa olwazi amazzi ne gavaamu.
22 ⓜ “Tewali mirembe eri aboonoonyi,” bwʼayogera Mukama.
© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.