Isaaya 49:1-26 LGCB2014 - Bible AI

1 Mumpulirize mmwe ebizinga, mmwe muwulire kino amawanga agali ewala. Nnali sinazaalibwa Mukama nʼampita. Bwe nnali nkyali mu lubuto lwa mmange nʼayatula erinnya lyange.

2 Yakola akamwa kange ngʼekitala ekyʼobwogi, nankweka mu kisiikirize kyʼomukono gwe. Yanfuula akasaale akazigule era nankweka mu mufuko gwe.

3Era nʼaŋŋamba nti, “Ggwe muweereza wange, Isirayiri, mu ggwe mwe ndiweerwa ekitiibwa.”

4Naye ne njogera nti, “Nteganidde bwereere, amaanyi gange ngʼamalidde bwereere era gafudde busa. Kyokka ate Mukama yannamula, nʼempeera yange eri ne Katonda wange!”

5Era kaakano Mukama ayogera, oyo eyammumba mu lubuto okubeera omuweereza we, okukomyawo Yakobo gyʼali era nʼokukuŋŋaanya Isirayiri gyʼali. Kubanga ndi wa kitiibwa mu maaso ga Mukama era Katonda wange afuuse amaanyi gange.

6 Mukama agamba nti, “Ekyʼokubeera omuweereza wange nʼokuzza amawanga ga Yakobo era nʼokukomyawo abantu ba Isirayiri kintu kitono nnyo. Nzija kukufuula ekitangaala eri abamawanga, olyoke oleete obulokozi bwange eri ensi yonna.”

7Bwʼati bwʼayogera Mukama, Omununuzi era Omutukuvu wa Isirayiri, eri oyo eyanyoomebwa nʼakyayibwa amawanga, eri omuweereza wʼabafuzi nti, “Bakabaka baliyimirira ne bakuwa ekitiibwa, abalangira balikulaba ne bakuvuunamira. Kino kiribaawo ku lwa Mukama, omwesigwa Omutukuvu wa Isirayiri, oyo akulonze.”

8 Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, “Ndikwanukula mu biro mwe ndisiimira, ku lunaku olwʼobulokozi ndikuyamba. Ndikukuuma ne nkufuula endagaano eri abantu, muliddayo ku ttaka lyammwe ne muddizibwa ebitundu byammwe ebyazika,

9nga mugamba abasibe nti, ‘Muveemu,’ nʼabo abali mu kizikiza nti, ‘Mube nʼeddembe!’ Banaaliranga ku mabbali gʼekkubo, ne ku ntikko zʼobusozi bwonna obwereere banasangangako omuddo.

10 Tebaalumwenga njala newaakubadde ennyonta, ebbugumu lyʼomu ddungu teriibakwatenga newaakubadde omusana okubookya. Oyo abakwatirwa ekisa alibakulembera, anaabatwalanga awali enzizi zʼamazzi.

11Era ndifuula ensozi zange zonna okuba amakubo era enguudo zange ennene zirigulumizibwa.

12Laba, abantu bange balidda okuva ewala, abamu, baliva mu bukiikakkono nʼabalala ebuvanjuba, nʼabalala bave mu nsi ye Sinimu.”

12

13Yogerera waggulu nʼessanyu, era jjaguza ggwe ensi. Muyimbe mmwe ensozi! Kubanga Mukama agumya abantu be era alisaasira abantu be ababonyaabonyezebwa.

13

14Naye Sayuuni nʼayogera nti, “Mukama andese, era Mukama wange anneerabidde.”

15“Nnyina wʼomwana ayinza okwerabira omwana we gwʼayonsa, nʼatasaasira mwana eyava mu lubuto lwe? Weewaawo, wadde ngʼayinza okumwerabira naye nze sirikwerabira.

16Laba, nkuwandiise mu bibatu byʼengalo zange; ebisenge byo binaabeeranga mu maaso gange.

17Abaana bo banguwa okujja era abakuzimba balisukkuluma ku bakuzikiriza era abo abaakuzikirizanga balikuvaamu bagende.

18Yimusa amaaso go otunule enjuuyi zonna olabe. Abantu bo beekuŋŋaanya bajja gyʼoli. Nga bwe ndi Katonda omulamu, balikwesiimisa, obambale ngʼebikomo nʼemidaali ebyebbeeyi ngʼomugole bwʼayambala malidaadi,” bwʼayogera Mukama.

19“Wadde nga wazika nʼolekebwa awo ensi yo nʼezikirizibwa, kaakano ojja kubeera mufunda nga toja mu bantu bo, era abo abakuteganya banaakubeeranga wala.

20Abantu bo abazaalibwa mu buwaŋŋanguse lumu balyogera ngʼowulira nti, ‘Ekifo kino nga kifuuse kifunda bulala; tuwe ekifo awʼokubeera.’

21Nʼolyoka oyogera mu mutima gwo nti, ‘Ani eyanzaalira abaana bano bonna? Nafiirwa abaana bange bonna ngʼate ndi mugumba. Nawaŋŋangusibwa ne nsigala nzekka. Bano baava ludda wa?’ ”

22Bwʼatyo bwʼayogera Mukama Katonda nti, “Laba, ndikolera abamawanga obubonero era ndiyimusiza abantu ebbendera yange: era balireeta batabani bo nga babasitulidde mu bifuba ne bawala bo nga babasitulidde ku bibegabega byabwe.

23Era bakabaka be balibeera ba kitammwe babalabirire, ne bannabagereka babeere bamaama ababayonsa. Balivuunama mu maaso go nga batunudde wansi; balikomba enfuufu yʼomu bigere byo. Olwo lwʼolimanya nti nze Mukama, abo bonna abannindirira nʼabansuubiriramu tebalikwatibwa nsonyi.”

24Omunyago guyinza okuggyibwa ku mutabaazi, oba omuwambe omutuukirivu okuwona omutabaazi?

25Naye bwʼati bwʼayogera Mukama: “Nʼoyo eyawambibwa omutabaazi alisumululwa ateebwe, nʼomunyago guggyibwe ku mulabe wo, kubanga ndiyomba nʼoyo ayomba naawe, era ndirokola mponye abaana bo.

26Ndiriisa abakujooga ennyama yaabwe bo. Era balittiŋŋana batamiire omusaayi gwabwe, nga wayini. Olwo abalina omubiri bonna bamanye nti nze Mukama Omulokozi wo, Omununuzi wo, owʼamaanyi owa Yakobo.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>