Isaaya 5:1-30 LGCB2014 - Bible AI

1 Ka nnyimbire omwagalwa wange oluyimba olukwata ku nnimiro ye eyʼemizabbibu. Omwagalwa wange yalina nnimiro eyʼemizabbibu ku lusozi olugimu.

2Era nʼagirima nʼagiggyamu amayinja gonna, nʼagisimbamu emizabbibu egisinga obulungi. Era wakati mu yo nʼazimbamu ebigulumu okulengererwa. Nʼagisimamu nʼessogolero nʼagisuubira okubala emizabbibu emirungi naye nʼebala emizabbibu nga si mirungi nʼakatono.

3“Era kaakano abatuuze bʼomu Yerusaalemi nʼabasajja bʼomu Yuda, munsalirewo nze nʼennimiro yange eyʼemizabbibu.”

4Ate kiki kye nandikoledde ennimiro yange eno, kye ssaagikolera? Bwe naginoonyamu emizabbibu emirungi, lwaki saalabamu mirungi?

5 Kaakano muleke mbabuulire kye nnaakola ennimiro yange. Nzija kugiggyako olukomera eyonooneke. Ndimenya ekisenge kyayo yonna erinnyirirwe.

6Era ndigireka nʼezika, sirigirima wadde okugisalira. Naye ndigireka nʼemeramu emyeeramannyo nʼamaggwa. Ndiragira nʼebire obutatonnyesaamu nkuba.

6

7Ennyumba ya Isirayiri yʼennimiro ya Mukama Katonda Ayinzabyonna eyʼemizabbibu. Abantu ba Yuda yʼennimiro gye yasiima. Yali abasuubiramu bwenkanya naye yabalabamu kuyiwa musaayi. Yabasuubiramu butuukirivu naye nawulira kukaaba na kulaajana.

7

8Zibasanze mmwe aboongera amayumba ku ge mulina, nʼennimiro ne muzongerako endala ne wataba kafo konna kasigadde, ne mubeera mwekka wakati mu nsi!

9Mukama Katonda alayidde nga mpulira nti, “Mu mazima ennyumba nnyingi zirifuuka bifulukkwa, nʼezo ennene ezʼebbeeyi zibulemu abantu.

10Kubanga yika kkumi ezʼennimiro yʼemizabbibu zinaavangamu ekibbo kimu, nʼogusero ogwʼensigo, kabbo bubbo akʼamakungula.”

10

11Zibasanze abo abakeera enkya ku makya banoonye ekitamiiza, abalwawo nga banywa omwenge ettumbi lyʼobudde, okutuusa omwenge lwe gubalalusa!

12 Ababeera nʼennanga nʼentongooli, ebitaasa nʼendere, nʼomwenge ku mbaga zaabwe; naye ne batalowooza ku mulimu gwa Mukama Katonda, wadde okussa ekitiibwa mu ebyo bye yatonda.

13Abantu bange kyebavudde bagenda mu buwaŋŋanguse kubanga tebalina kutegeera. Abantu baabwe abʼekitiibwa bafe enjala, nʼebikumi nʼebikumi byabwe bife ennyonta.

14Amagombe kyegavudde gagaziya omumiro gwago, era ne gaasamya akamwa kaago awatali kkomo. Mu ko mwe munaagenda abakungu baabwe nʼabantu baabwe abaabulijjo, nʼabʼeffujjo nʼabatamiivu.

15Buli muntu alitoowazibwa, abantu bonna balikkakkanyizibwa era amaaso gʼabo abeemanyi nago gakkakkanyizibwe.

16Naye Mukama Katonda owʼEggye aligulumizibwa olwʼobwenkanya, era Katonda Omutukuvu yeerage nga bwʼali omutukuvu mu butuukirivu bwe.

17Endiga ento ziryoke zirye ngʼeziri mu malundiro gaazo, nʼensolo engenyi ziriire mu bifo ebyalekebwa awo, ebyalundirwangamu eza ssava.

17

18Zibasanze abo abasikaasikanya ebibi byabwe ngʼembalaasi bwʼesika ekigaali.

19 Aboogera nti, “Ayanguyeeko, ayite mu bwangu tulabe kyʼanaakola. Entegeka zʼomutukuvu wa Isirayiri nazo zijje, zituuke nazo tuzimanye.”

19

20Zibasanze abo abayita ekibi ekirungi nʼekirungi ekibi, abafuula ekizikiza okuba ekitangaala, nʼekitangaala okuba ekizikiza, abafuula ekikaawa okuba ekiwoomerera nʼekiwoomerera okuba ekikaawa.

20

21Zibasanze abo abeeraba ngʼabalina amagezi, era abagezigezi bo nga bwe balaba.

21

22Zibasanze abo abazira mu kunywa omwenge era mu kutabula ekitamiiza,

23abejjeereza abatemu olwʼenguzi era abamma abatuukirivu obwenkanya obubagwanidde.

24Kale ngʼolulimi lwʼomuliro bwe lwokya ekisagazi ekikalu, era ngʼomuddo omukalu bwe guggweerera mu muliro, bwe gityo nʼemirandira gyabwe bwe girivunda, era nʼebimuli byabwe bifuumuuke ngʼenfuufu; kubanga baajeemera etteeka lya Mukama Katonda owʼEggye, era ne banyooma ekigambo kyʼOmutukuvu wa Isirayiri.

25Noolwekyo obusungu bwa Mukama Katonda bubuubuukira ku bantu be, nʼagolola omukono gwe nʼabasanjaga, ensozi ne zikankana era nʼemirambo gyabwe ne gibeera ngʼebisasiro wakati mu nguudo.

25Naye wadde nga biri bwe bityo, obusungu bwa Mukama Katonda tebunnakakkana era omukono gwe gukyagoloddwa.

26Era aliyimusiza eggwanga eriri ewala bbendera, alibakoowoola ngʼasinziira ku nkomerero yʼensi, era laba, balyanguwako okujja.[6]

27Tewali nʼomu akooye, tewali nʼomu yeesittala. Tewali nʼomu asumagira wadde okwebaka. Tewali aliba yeesibye lukoba olutanywedde mu kiwato kye, wadde aliba nʼolukoba lwʼengatto olulikutuka.

28Obusaale bwabwe bwogi, nʼemitego gyabwe gyonna mireege. Ebinuulo byʼembalaasi zaabwe biriba ngʼamayinja agʼembaalebaale, Ne nnamuziga wʼamagaali gaabwe ngʼadduka ngʼembuyaga yʼakazimu.

29Okuwuluguma kwabwe kuliba nga okwʼempologoma, balikaaba ngʼempologoma ento: weewaawo baliwuluguma bakwate omuyiggo gwabwe bagutwalire ddala awatali adduukirira.

30Era ku lunaku olwo baliwuumira ku munyago gwabwe ngʼennyanja eyira. Omuntu yenna bwʼalitunuulira ensi, aliraba ekizikiza nʼennaku; nʼekitangaala kiribuutikirwa ebire ebikutte.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.