1Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, “Ebbaluwa egoba nnyammwe, kwe namugobera eri ludda wa? Oba nabatunda eri ani? Mwatundibwa lwa bikolwa byammwe ebibi; olwʼobutali butuukirivu bwammwe nnyammwe kyeyava agobwa.
2Lwaki bwe najja tewaali muntu nʼomu? Bwe nakoowoola lwaki tewaali muntu nʼomu annyanukula? Omukono gwange gwali mumpi nnyo okukununula? Mbuliddwa amaanyi agakununula? Laba nnyinza okwogera obwogezi ennyanja nʼekalira, emigga ne ngifuula eddungu, ebyennyanja byamu ne bifa ennyonta, ne bivunda olwʼokubulwa amazzi.
3Nyambaza eggulu, nʼekizikiza ne nkiwa ebibukutu okulibikka.
4Mukama Ayinzabyonna ampadde olulimi oluyigirizibbwa, mmanye ebigambo ebigumya abo abakooye. Anzukusa buli nkya, buli nkya anzukusa okuwulira byʼanjigiriza.
5Mukama Ayinzabyonna azibudde okutu kwange ne siba mujeemu. Sizzeeyo mabega.
6ⓢ Nʼawaayo omugongo gwange eri abankuba, nʼamatama gange eri abo abankunyuulako ekirevu. Saakweka maaso gange eri abo abansekerera nʼeri abo abanfujjira amalusu.
7Kubanga Mukama Ayinzabyonna anyamba kyennaava siswazibwa. Noolwekyo kyenvudde nʼegumya era mmanyi nti siriswazibwa.
8ⓣ Kubanga oyo ampolereza ali kumpi. Ani alinnumiriza omusango? Twolekagane obwenyi. Ani annumiriza? Ajje annumbe.
9Mukama Ayinzabyonna yʼanyamba. Ani alinsalira omusango? Bonna balikaddiwa bayulike ngʼekyambalo; ennyenje ziribalya.
10Ani ku mmwe atya Mukama, agondera ekigambo kyʼomuweereza we? Oyo atambulira mu kizikiza, atalina kitangaala yeesige erinnya lya Mukama era yeesigame ku Katonda we.
11Naye mmwe mwenna abakoleeza omuliro, ne mwekoleereza ettaala zʼomuliro, mutambulire mu kitangaala kyʼomuliro gwammwe, ne mu kitangaala kye ttaala ze mukoleezeza. Naye kino kye munaafuna okuva mu mukono gwange; muligalamira mu nnaku.”