1“Mumpulirize, mmwe abanoonya obutuukirivu, mmwe abanoonya Mukama: Mutunuulire olwazi lwe mwatemebwako, nʼobunnya bwʼekirombe gye mwasimibwa.
2Mulowooze ku Ibulayimu jjajjammwe ne Saala eyabazaala. Kubanga we namuyitira yali bwʼomu ne mmuwa omukisa ne mmwaza.
3Kubanga ddala Mukama alikubagiza Sayuuni; akwatirwe ekisa ebifo byakyo byonna ebyazika era afuule olukoola lwe lwonna okuba Adeni, nʼeddungu libeere ngʼennimiro ya Mukama; Essanyu nʼokujaguza biryoke bibeere omwo, okwebaza nʼamaloboozi agʼokuyimba.”
3
4ⓤ “Mumpulirize, mmwe abantu bange; era muntegere okutu mmwe ensi yange. Kubanga etteeka lifuluma okuva gye ndi, obwenkanya bwange bubeere omusana eri amawanga.
5Obutuukirivu bwange busembera mangu nnyo, obulokozi bwange buli mu kkubo. Era omukono gwange gujja kuleeta obwenkanya eri amawanga. Ebizinga birinnindirira era birindirire nʼessuubi omukono gwange okubirokola.
6Muyimuse amaaso gammwe eri eggulu, mutunuulire ensi wansi! Kubanga eggulu lirivaawo ngʼomukka nʼensi ekaddiwe ngʼekyambalo. Abagituulamu balifa ngʼensowera. Naye obulokozi bwange bunaabeereranga emirembe gyonna, so nʼobutuukirivu bwange tebujjulukukenga.”
8
9ⓦ Zuukuka, zuukuka oyimuke otuyambe Ayi Mukama Katonda. Kozesa amaanyi go otuyambe. Gakozese nga edda. Si ggwe wuuyo eyatemaatemamu Lakabu obufiififi? Si ye ggwe eyafumita ogusota?
10Si ggwe wuuyo eyakaliza ennyanja, amazzi agʼobuziba obuwanvu ennyo ne gafuuka ekkubo abantu be wanunula bayitewo?
11Nʼabo Mukama be wawonya balikomawo ne bajja mu Sayuuni nga bayimba. Essanyu eryʼemirembe nʼemirembe liriba nga ngule ku mitwe gyabwe. Balisanyuka ne bajaguza; ennaku nʼokusinda bibadduke.
12“Nze, nze mwene, nze nzuuno abawa amaanyi. Mmwe baani abatya omuntu alifa, nʼomwana wʼomuntu ali ngʼomuddo,
13ne weerabira Mukama Omutonzi wo eyabamba eggulu, nʼateekawo nʼemisingi gyʼensi, ebbanga lyonna ne mubeera mu kutya obusungu bwʼabo abakunyigiriza, oyo eyemalidde mu kuzikiriza? Kubanga kale buliruddawa obulabe bwʼoyo abanyigiriza?
14Abo be bawamba ne basibibwa banaatera okuteebwa, tebalifiira mu bunnya, era tebalibulwa mmere gye balya.
15Kubanga nze Mukama Katonda wo, asiikuula amayengo gʼennyanja ne gawuluguma: Mukama owʼEggye lye linnya lye.
16Ntadde ebigambo byange mu kamwa ko, era nkubisse mu kisiikirize kyʼomukono gwange. Nze nakola eggulu ne nteekawo emisingi gyʼensi; era nze wuuyo agamba Sayuuni nti, ‘Muli bantu bange!’ ”
17ⓧ Zuukuka, zuukuka, oyimirire ggwe Yerusaalemi eyanywa okuva eri Mukama ekikompe ekyʼobusungu bwe, eyanywa nʼomaliramu ddala ekibya ekitagaza.
18Ku baana aboobulenzi bonna be yazaala tewali nʼomu wa kumukulembera. Ku baana bonna aboobulenzi be yakuza tewali nʼomu wa kumukwata ku mukono.
19Ebintu bino ebibiri bikuguddeko ani anaakunakuwalirako? Okuzika nʼokuzikirira, enjala, nʼekitala, ani anaakubeesabeesa?
20Batabani bo bazirise, bagudde ku buli nsonda yʼoluguudo ngʼengabi egudde mu kitimba. Babuutikiddwa ekiruyi kya Mukama, nʼokunenyezebwa kwa Katonda wo.
20
21Noolwekyo wulira kino ggwe, atamidde naye si lwa mwenge.
22Bwʼatyo bwʼayogera Mukama Ayinzabyonna, Katonda wo alwanirira abantu be. “Laba mbaggyeeko ekikompe kye nabawa olwʼekiruyi kye nalina, ekyabatagaza. Temuliddayo kukinywa nate.
23Ndikiteeka mu mikono gyʼabo abaababonyaabonya abaabagamba nti, ‘Mugwe wansi mwegolole tubatambulireko.’ Emigongo gyammwe gibe ngʼettaka, ngʼoluguudo olwʼokulinnyirira.”