Isaaya 52:1-15 LGCB2014 - Bible AI

1 Zuukuka, zuukuka, oyambale amaanyi go, ggwe Sayuuni. Ggwe Yerusaalemi ekibuga ekitukuvu, teekako ebyambalo byo ebitemagana. Kubanga okuva leero mu miryango gyo temukyayingira mu atali mukomole nʼatali mulongoofu.

2Weekunkumuleko enfuufu, yimuka otuule ku ntebe eyʼobwakabaka ggwe Yerusaalemi. Weesumulule enjegere mu bulago bwo, ggwe Omuwala wa Sayuuni eyanyagibwa.

3Kubanga bwʼati bwʼayogera Mukama nti, “Mwatundibwa bwereere era mujja kununulibwa awatali kusasula nsimbi.”

4Kubanga bwʼati bwʼayogera Mukama Ayinzabyonna nti, “Omulundi ogwasooka abantu bange baagenda e Misiri okusengayo, oluvannyuma, Omwasuli nʼabajooga.

5 “Kaakano kiki ate kye ndaba wano? Kubanga abantu bange baatwalirwa bwereere era abo ababafuga babasekerera,” bwʼayogera Mukama. “Erinnya lyange livvoolebwa olunaku lwonna.

6Mu biseera ebijja abantu bange balimmanya. Olunaku lujja lwe balitegeera nga nze nakyogera. Weewaawo, Nze.”

7 Nga birungi ku nsozi ebigere byʼoyo aleeta amawulire amalungi, alangirira emirembe, aleeta ebigambo ebirungi, alangirira obulokozi, agamba Sayuuni nti, “Katonda wo afuga.”

8Wuliriza! Amaloboozi gʼabakuumi bo gawulikika, gayimusiddwa. Bonna awamu bajaguza olwʼessanyu. Kubanga okudda kwa Mukama mu Sayuuni balikulaba nʼamaaso gaabwe.

9Mubaguke okuyimba ennyimba ezʼessanyu mwenna, mmwe ebifo bya Yerusaalemi ebyazika. Kubanga Mukama asanyusizza abantu be, anunudde Yerusaalemi.

10Mukama aliraga omukono gwe omutukuvu eri amawanga gonna, bagulabe. Enkomerero zʼensi zonna ziriraba obulokozi bwa Katonda waffe.

11 Mugende, mugende muveewo awo. Temukwata ku kintu kyonna kitali kirongoofu. Mukifulumemu mubeere balongoofu mmwe abasitula ebyombo bya Mukama.

12Naye temulivaamu nga mwanguyiriza so temuligenda nga mudduka; kubanga Mukama alibakulembera abasookeyo; Katonda wa Isirayiri yʼalibakuuma.

13Laba, omuweereza wange byʼakola alibikozesa magezi, aliyimusibwa asitulibwe, era assibwemu nnyo ekitiibwa.

14Ngʼabaamulaba ne bennyamira bwe baali abangi, endabika ye ngʼeyonoonese nnyo nga takyafaananika, era ngʼeyonoonese evudde ku yʼabantu,

15 bwʼatyo bwʼanawuniikiriza amawanga mangi; bakabaka balibunira ku lulwe; kubanga ekyo ekitababulirwanga balikiraba, era ekyo kye batawulirangako, balikitegeera.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>