1ⓓ Ani akkiriza ebigambo byaffe, era ani abikkuliddwa omukono gwa Mukama?
2Kubanga yakulira mu maaso ga Mukama ngʼekisimbe ekigonvu era ngʼomulandira oguva mu ttaka ekkalu. Teyalina kitiibwa wadde obulungi obutusikiriza tulage gyʼali; tewaali kalungi mu ye katumwegombesa.
3Yanyoomebwa nʼagaanibwa abantu; omuntu eyagumira ennaku nʼobuyinike. Tetwayagala na kumutunulako, ngʼomuntu gwe wandikubye amabega ngʼayitawo, bwe twamunyooma ne tutamuyitamu kabuntu.
4ⓔ Mazima ddala yeetikka obuyinike bwaffe, nʼatwala ennaku yaffe, obulumi obwanditulumye bwe bwamunyiga. Ate nga twalowooza nti okubonaabona kwe kyali kibonerezo okuva eri Katonda.
5ⓕ Naye yafumitibwa olwʼokusobya kwaffe. Yabetentebwa olwʼobutali butuukirivu bwaffe. Yeetikka ekibonerezo ffe tusobole okubeera nʼemirembe. Ebiwundu bye, bye bituwonya.
6ⓖ Ffenna twawaba ngʼendiga; buli omu ku ffe nʼakwata ekkubo lye; Mukama nʼamuteekako obutali butuukirivu bwaffe ffenna.
7ⓗ Yanyigirizibwa era nʼobonyaabonyezebwa naye talina kye yanyega, yali ngʼomwana gwʼendiga ogutwalibwa okuttibwa, era ngʼendiga bwesirika obusirisi mu maaso gʼabo abagisalako ebyoya bwesirika, bwʼatyo bwe yasirika.
8Mu kunyigirizibwa nʼokusalirwa omusango yatwalibwa. Ani amanyi ku bye zadde lye? Yaggyibwa mu nsi yʼabalamu, ngʼakubiddwa olwʼokusobya kwʼabantu, bange.
9ⓘ Ne bamussa mu ntaana nʼabakozi bʼebibi, nʼaziikibwa nʼabagagga mu kufa kwe, newaakubadde nga teyazza musango wadde akamwa ke okwogera ebyʼobulimba.
10Songa ate yali nteekateeka ya Mukama okumubetenta, era nʼokumuleetera okubonaabona. Naye wadde nga Mukama yafuula obulamu bwe, okuba ekiweebwayo olwʼekibi, aliraba ezzadde, era obulamu bwe bulyongerwako, nʼebyo Mukama byʼasiima biriraba omukisa mu mukono gwe.
11Oluvannyuma lwʼokubonaabona kwʼobulamu bwe, bwʼaliraba ku ebyo ebiva mu kubonaabona kwe, omutima gwe gulitereera. Era olwʼebyo bye yayitamu omuweereza wange omutuukirivu alireetera bangi okubalirwa obutuukirivu; era alyetikka obutali butuukirivu bwabwe.
12ⓙ Kyendiva mmuwa ekifo ekyʼekitiibwa mu bangi, era aligabira bangi omunyago kubanga yafuka obulamu bwe okutuusa okufa, nʼabalirwa wamu nʼabakozi bʼebibi. Era yeetikka ebibi byʼabangi era ne yeegayiririra abakozi bʼebibi.