Isaaya 54:1-17 LGCB2014 - Bible AI

1 “Yimba ggwe omugumba atazaalanga; tandika okuyimbira mu ddoboozi eryʼomwanguka osanyukire ddala ggwe atalumwanga kuzaala. Kubanga ggwe eyalekebwa ojja kuba nʼabaana bangi okusinga oyo akyalina bba,” bwʼayogera Mukama.

2“Gaziya weema yo, owanvuye emiguwa gyayo, tokwata mpola; nyweza enkondo zo.

3Kubanga olisaasaanira ku mukono gwo ogwa ddyo era nʼogwa kkono, nʼezzadde lyo lirirya amawanga, era abantu bo balituula mu bibuga ebyalekebwa awo ebyereere.”

3

4“Totya kubanga toliddayo kukwatibwa nsonyi. Toggwaamu maanyi kubanga togenda kuswazibwa. Olyerabira ensonyi zʼobuvubuka bwo, nʼekivume kyʼobwannamwandu bwo tolikijjukira nate.

5Kubanga Omutonzi wo ye balo, Mukama Katonda owʼEggye lye linnya lye. Omutukuvu wa Isirayiri ye Mununuzi wo, Katonda owʼensi yonna, bwʼayitibwa.

6Kubanga Mukama Katonda yakuyita okomewo, ngʼomukazi eyali alekeddwawo ngʼalina ennaku ku mutima; omukazi eyafumbirwa ngʼakyali muto, nʼalekebwawo,” bwʼayogera Katonda wo.

7“Nakulekako akaseera katono nnyo; naye ndikukuŋŋaanya nʼokusaasira okungi.

8Obusungu obubuubuuka bwe bwankwata nakweka amaaso gange okumala ekiseera, naye ndikukwatirwa ekisa nʼokwagala okutaliggwaawo,” bwʼayogera Mukama Katonda, Omununuzi wo.

8

9 “Kubanga gye ndi, bino biri nga bwe byali mu biseera bya Nuuwa. Nga bwe nalayira nti amazzi ga Nuuwa tegagenda kuddamu kulabikako ku nsi, bwe ntyo ndayira nti siriddayo kukusunguwalira wadde okukunenya.

10Kubanga ensozi ziyinza okuvaawo nʼobusozi okuggyibwawo naye okwagala kwange okutaggwaawo tekulisagaasagana so nʼendagaano yange eyʼemirembe teriggyibwawo,” bwʼayogera Mukama Katonda akusaasira.

11 Mukama agamba nti, “Ggwe Yerusaalemi ekibuga ekibonyaabonyezebwa, ekisuukundibwa emiyaga awatali kulaba ku mirembe; laba ndikuzimba buto nʼamayinja agʼamabala amalungi, emisingi gyo ne gizimbibwa ne safiro.

12Ebitikkiro byo ndibikola nʼamayinja amatwakaavu, nʼemiryango gyo ne ngikola ne kabunkulo, ne bbugwe yenna ne mwetoolooza amayinja agʼomuwendo.

13 Nʼabaana bo bonna baliyigirizibwa Mukama; nʼemirembe gyʼabaana bo giriba mingi.

14Olinywezebwa mu butuukirivu era toojoogebwenga, kubanga tolitya, onoobanga wala nʼentiisa kubanga terikusemberera.

15Omuntu yenna bwakulumbanga kiriba tekivudde gye ndi. Buli anaakulumbanga anaawangulwanga ku lulwo.

16Laba nze natonda omuweesi, awujja amanda agaliko omuliro nʼaweesa ekyokulwanyisa olwʼomugaso gwakyo. Era nze natonda abazikiriza abakozesa ekyokulwanyisa okumalawo obulamu.

17Naye teri kyakulwanyisa kye baliweesa ekirikwolekera ne kikusobola, era oliwangula buli lulimi olulikuvunaana era oluwoza naawe. Guno gwe mugabo gwʼabaddu ba Mukama, nʼobutuukirivu bwabwe obuva gye ndi,”

17bwʼayogera Mukama.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>