Isaaya 55:1-13 LGCB2014 - Bible AI

1 “Kale mujje, mmwe mwenna abalumwa ennyonta, mujje eri amazzi. Mujje mmwe abatalina ssente zigula, mujje muweebwe bye mwagala, envinnyo oba amata ebitali bya kugula ebitaliiko miwendo gya kusasula.

2Lwaki musaasaanya ensimbi zammwe ku ebyo ebitali bya kulya muteganira ebyo ebitakkusa? Mumpulirize, mumpulirize nʼobwegendereza mulye ebyo ebirungi, emmeeme yammwe eneesanyuka nnyo.

3 Mumpulirize mujje gye ndi. Muwulirize mubeere balamu; nnaabakolera endagaano eyʼolubeerera, era egyo gyʼemikisa gyange nʼokwagala bye nasuubiza Dawudi.

4Laba namufuula omujulirwa eri abantu, omukulembeze era omugabe wʼabantu.

5Laba oliyita amawanga gʼotomanyi, era amawanga gʼotomanyi galyanguwa okujja gyʼoli. Kiribaawo olwʼobuyinza bwa Mukama Katonda wo era Omutukuvu wa Isirayiri kubanga akugulumizza.”

6 Munoonye Mukama nga bwʼakyayinzika okulabika, mumukaabirire nga bwʼakyali okumpi.

7Omubi aleke ekkubo lye, nʼatali mutuukirivu aleke ebirowoozo bye. Leka adde eri Mukama naye anaamusaasira, adde eri Katonda waffe kubanga anaamusonyiyira ddala.

7

8“Kubanga ebirowoozo byange si birowoozo byammwe era nʼamakubo gammwe si ge makubo gange,”

8bwʼayogera Mukama.

9“Ngʼeggulu bwe liri waggulu okukira nʼensi, bwe gatyo amakubo gange bwe gali ewala ennyo nʼamakubo gammwe, nʼebirowoozo byange bwe biri eri ebirowoozo byammwe.

10 Era ngʼenkuba bwetonnya nʼomuzira ne gugwa okuva mu ggulu nʼebitaddayo, wabula ne bifukirira ettaka, ebirime ne bikula, ne bimerusa ensigo zʼomusizi, era ne biwa omuli emmere,

11bwe kityo ekigambo kyange ekiva mu kamwa kange bwe kiri; tekiriddayo bwereere, naye kirikola ekyo kye njagala era kirituukiriza ekyo kye nakituma.

12Kubanga mulifuluma nʼessanyu ne mugenda mirembe, ensozi nʼobusozi nabyo ne bitandika okuyimba nga bibalabye, nʼemiti gyonna ne gitendereza nʼessanyu.

13Mu kifo kyʼomweramannyo mulimeramu olusambya, ne mu kifo kyʼomutovu mulimeramu omumwanyi. Era kino kiribaawo erinnya lya Mukama limanyibwe era ako ke kaliba akabonero akataliggwaawo akʼemirembe nʼemirembe.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>