1Bwʼati bwʼayogera Mukama nti, “Mukolenga obwenkanya era ebituufu, kubanga obulokozi bwange bunaatera okujja, nʼobutuukirivu bwange bunatera okubikkulibwa.
2Alina omukisa omuntu akola ekyo, nʼomwana wʼomuntu akinyweererako. Akwata ssabbiiti obutagyonoona, nʼakuuma omukono gwe obutakola kibi na kimu.”
3Era ne munnaggwanga eyeegatta ku Mukama tayogeranga nti, “Mukama, oboolyawo alinjawula ku bantu be,” so nʼomulaawe okugamba nti, “Ndi muti mukalu.”
4Kubanga bwʼatyo bwʼayogera Mukama nti, “Eri abalaawe abakwata ssabbiiti zange ne basalawo okugoberera ebyo ebinsanyusa, ne bakuuma endagaano yange,
5amannya gaabwe galijjukirwa mu yeekaalu yange mu bisenge byamu, ngʼekijjukizo nʼokusinga bwe mwandibadde nʼabaana aboobulenzi nʼaboobuwala. Ndibawa erinnya eritaliggwaawo eryʼemirembe nʼemirembe.
6Nʼabo bannaggwanga abasalawo okwegatta ku Mukama, okumuweereza era nʼokwagala erinnya lya Mukama era nʼokubeera abaweereza be, abakwata ssabbiiti ne batagyonoona era ne banyweza endagaano yange,
7ⓢ bano ndibaleeta ku lusozi lwange olutukuvu era ne mbawa essanyu mu nnyumba yange eyʼokusabiramu. Ebiweebwayo byabwe ebyokebwa ne ssaddaaka zaabwe birikkirizibwa ku kyoto kyange. Kubanga ennyumba yange eriyitibwa nnyumba ya kusabiramu eri amawanga gonna.”
8Bwʼati bwʼayogera Mukama Ayinzabyonna, akuŋŋaanya Abayisirayiri abaawaŋŋangusibwa nti, “Ndikuŋŋaanyaayo abantu abalala ngʼoggyeko abantu bange aba Isirayiri be nkuŋŋaanyizza.”
9ⓣ Mukama agamba amawanga amalala okujja ngʼensolo ezʼomu nsiko, galye abantu be.
10ⓤ Kubanga abakulembeze ba Isirayiri bazibe ba maaso, bonna tebalina magezi, bonna mbwa ezitasobola kuboggola, zibeera mu kuloota nakugalaamirira ezaagala okwebaka obwebasi.
11Embwa ezirina omululu omuyitirivu ezitakkuta. Basumba abatayinza kutegeera, bonna abakyamye mu makubo gaabwe; buli muntu ngʼafa ku kwenoonyeza kyʼanaalya.
12Bagambagana nti, “Mujje, leka tukime omwenge tunywe tutamiire. Nʼolwʼenkya lunaku ngʼolwa leero, oba nʼokusingawo.”