4Muzannyira ku ani?Ani gwe mukongoolane mumusoomooza?Temuli baana ba bujeemu,ezzadde eryobulimba?
5Mwaka ne mwegombera wansi wʼemivulena buli wansi wa buli muti oguyimiridde;mmwe abasaddaaka abaana bammwe mu biwonvune wansi wʼenjatika zʼenjazi.
6Bakatonda bo ge mayinja amaweweevu[31] gosinziza mu biwonvu,abo be babo, obusika bwo;abo bʼofukira ekiweebwayo ekyokunywaera nʼebiweebwayo ebyʼempeke.Nga weemalidde mu kukola bino byonna, olowooza nnyinza okusanyuka?
7Mwambuka ku ntikko zʼensozi okwendanga mugenze okuwaayo ssaddaaka.
8Emabega wʼenzigi zammwewe muteeka ebibumbe ebyʼobuwemu bye musinza.Mwandeka ne mukola ebyʼobuwemumu bitanda byammwe ebigazi.Eyo gye mweyambulira ne mukola endagaanonʼabo be mwagala be muleeta mu bitanda byammwe.
15Kubanga bwʼatyo bwʼayogera oyo ali wagguluomugulumivu omulamu emirembe nʼemirembe,owʼerinnya ettukuvu nti,“Ntuula mu kifo ekigulumivu ekitukuvuawamu nʼoyo alina omwoyo oguboneredde ogwetoowaza,okuzzaamu amaanyiomwoyo gwʼabakkakkamu,era nʼogwʼabo ababoneredde.
16Kubanga sirirumiriza bantu bange emirembe nʼemirembeera siribasunguwalira bbanga lyonna.Kubanga omutima gwʼomuntu gwandigwereddewo mu maaso gange nga ndaba,emmeeme yʼomuntu nze gye nakola.
17Olwʼokwegomba kwe okwʼobutali butuukirivu nnali nzijjudde obusungu.Namubonereza ne nkweka amaaso gange olwʼobusungu obunginaye yeeyongera okugenda mu maaso mu makubo amabi.
18Nalaba byʼakola, naye ndimuwonya.Ndimuluŋŋamya ne muddiza emirembe era ne mbeesabeesa abo abakungubaga.