Isaaya 58:1-14 LGCB2014 - Bible AI

1Kyogere mu ddoboozi eryʼomwanguka, tokisirikira. Yimusa eddoboozi lyo ngʼekkondeere,[32] obuulire abantu bange okusobya kwabwe, nʼennyumba ya Yakobo ebibi byabwe.

2Kubanga bannoonya buli lunaku era beegomba okumanya amakubo gange, nga bali ngʼabantu abakola ebyʼobutuukirivu so si abaaleka edda ebiragiro bya Katonda waabwe. Bambuuza ensala ennuŋŋamu, ne basanyukira Katonda okusembera gye bali.

3Beebuuza nti, “Lwaki twasiiba, naye ggwe nʼotokifaako? Lwaki twetoowaza naye ggwe nʼotokissaako mwoyo?” Musooke mulabe, ennaku ze musiiba muba munoonya ssanyu lyammwe ku bwammwe, musigala munyigiriza abakozi bammwe.

4Njagala mulabe. Kalungi ki akali mu kusiiba ngʼate mugenda kudda mu nnyombo, nʼokukaayana nʼokukuba bannammwe agakonde. Temuyinza kusiiba nga bwe mukola kaakano eddoboozi lyammwe ne liwulirwa mu ggulu.

5Okusiiba kwe nalonda bwe kutyo bwe kufaanana? Olunaku omuntu lwʼeyetoowalizaako? Kukutamya bukutamya mutwe, kuguweta nga lumuli nʼokugalamira mu bibukutu mu vvu? Okwo kwe muyita okusiiba, olunaku olusiimibwa Mukama?

5

6Kuno kwe kusiiba kwe nalonda; okusumulula enjegere ezinyigiriza abantu, nʼokuggyawo emiguwa gyʼekikoligo, nʼokuta abo abanyigirizibwa, nʼokumenya buli kikoligo?

7 Si kugabira bayala ku mmere yo, nʼokusembeza abaavu abatalina maka mu nnyumba yo; bwʼolaba ali obwereere, nʼomwambaza nʼotekweka baŋŋanda zo abeetaaga obuyambi bwo?

8Awo omusana gwo gulyoke guveeyo gwake ngʼemmambya esala, era okuwonyezebwa kwo kujje mangu; obutuukirivu bwo bukukulembere, era ekitiibwa kya Katonda kikuveeko emabega.

9Olwo olikoowoola, Mukama nʼakuddamu; olikaaba naye nʼakuddamu nti, Ndi wano.

9“Bwe muliggyawo ekikoligo ekinyigiriza nʼokusonga ennwe, nʼokwogera nʼejjoogo;

10bwʼolyewaayo okuyamba abayala nʼodduukirira abali mu buzibu, olwo omusana gwo gulyaka nʼova mu kizikiza, ekibadde ekiro kifuuke ettuntu.

11Era Mukama anaakuluŋŋamyanga ennaku zonna, nʼakuwa ebintu ebirungi obulamu bwo bye bwetaaga, amagumba go aligongeramu amaanyi; era olibeera ngʼennimiro enfukirire obulungi, era ngʼoluzzi olwʼamazzi agatakalira.

12Nʼabantu bo balizimba ebifo ebyʼedda ebyazika era baddemu okuzimba emisingi egyʼedda. Olyoke oyitibwe omuddaabiriza wa bbugwe eyamenyeka, omuddaabiriza wa mayumba agʼokusulamu.

12

13“Bwʼoneekuumanga obutayonoona Ssabbiiti, obutakola nga bwʼoyagala ku lunaku lwange olutukuvu, bwʼonooluyitanga olwʼessanyu era olunaku lwa Mukama olwʼekitiibwa, singa muluwa ekitiibwa ne mutakwata makubo gammwe oba obutakola nga bwe mwagala oba okwogera ebigambo ebyʼokubalaata,

14awo olifuna essanyu eriva eri Mukama era olitambulira mu bifo byʼensi ebya waggulu era ndikuwa obusika bwa kitaawo Yakobo,”

14akamwa ka Mukama ke kakyogedde.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>