1Mulabe, omukono gwa Mukama teguyimpawadde nʼokuyinza ne gutayinza kulokola, era si muzibe wa matu nti tawulira.
2Naye obutali butuukirivu bwammwe bwe bubaawudde ku Katonda wammwe. Ebibi byammwe bye bimukwesezza amaaso ge, nʼatawulira.
3Kubanga emikono gyammwe gibunye omusaayi nʼengalo zammwe zibunye obutali butuukirivu, emimwa gyammwe gyogedde ebyʼobulimba, nʼennimi zammwe zʼogedde ebyʼekko.
4Tewali awaaba bya nsonga so tewali awoza mu mazima; Beesiga ensonga ezitaliimu, ne boogera ebyʼobulimba, ne baleeta emitawaana ne bazaala obulabe.
5Baalula amagi agʼessalambwa ne balanga ewuzi za nnabbubi: alya ku magi gaabwe afa nʼeryo eriba lyatise livaamu mbalasaasa.
6Naye enkwe zaabwe ze bakola tezibayamba, ziri ngʼengoye enkole mu wuzi za nnabbubi! Tebasobola kuzeebikka. Emirimu gyabwe mirimu gya kwonoona, nʼebikolwa byabwe bulabe.
7ⓨ Ebigere byabwe byanguyirira bikole ebibi era bapapirira bayiwe omusaayi ogutalina musango. Ebirowoozo byabwe birowoozo bya bubi, nʼokuzika nʼokuzikiriza bye biba buli we bagenda.
8Ekkubo eryʼemirembe tebalimanyi wadde okukozesa obwenkanya mu makubo gaabwe. Beekubidde amakubo, tewali nʼomu agayitamu afuna emirembe.
9Amazima gatuli wala, nʼobutuukirivu tetubufunye. Tunoonyezza omusana naye ekizikiza kitwesibyeko, we tusuubira obutangaavu, tutambulidde mu bisiikirize byereere.
10Tuwammantawammanta bbugwe ngʼabazibe, ne tukwatakwata ngʼabatalina maaso; twesittala mu ttuntu ngʼekiro mu abo abalina amaanyi ne tuba ngʼabafu.
11Ffenna tuwuluguma ngʼeddubu ne tusinda nga bukaamukuukulu. Tusuubira okuggyibwa mu kunyigirizibwa naye nga bwereere, nʼobulokozi butuliwala.
12Kubanga ebisobyo byaffe bingi mu maaso go era ebibi byaffe bitulumiriza, kubanga ebisobyo byaffe biri naffe, era tumanyi obutali butuukirivu bwaffe;
13obujeemu nʼenkwe eri Mukama era nʼokulekeraawo okugoberera Katonda waffe. Okutegeka obwediimo nʼokunyigiriza, okwogera ebyʼobulimba nʼemitima gyaffe bye girowoozezza.
14Obwenkanya buddiridde nʼobutuukirivu ne bubeera wala. Amazima geesitalidde mu luguudo, nʼobwesimbu tebuyinza kuyingira.
15Tewali wʼoyinza kusanga mazima, era oyo ava ku kibi asuulibwa.
15Mukama yakiraba nʼatasanyuka kubanga tewaali bwenkanya.
16ⓩ Nʼalaba nga tewali muntu, ne yennyamira nti tewali muntu ayinza kudduukirira. Noolwekyo kwe kusalawo okukozesa omukono gwe ye kennyini okuleeta obulokozi nʼobutuukirivu bwe okuwangula.
17ⓐ Yayambala obutuukirivu bwe ngʼekyʼomu kifuba, era nʼenkuufiira eyʼobulokozi ku mutwe gwe; nʼateekako ebyambalo byʼokuwoolera eggwanga era nʼayambala obunyiikivu ngʼomunagiro.
18Ngʼebikolwa byabwe bwe biri bwalisasula ekiruyi ku balabe be, nʼabamukyawa alibawa empeera yaabwe, nʼabo abali ewala mu bizinga abasasule.
19Noolwekyo balitya erinnya lya Mukama okuva ebugwanjuba, nʼekitiibwa kye okuva ebuvanjuba, kubanga alijja ngʼomugga ogukulukuta nʼamaanyi, omukka gwa Mukama gwe gutwala.
20ⓑ “Era Omununuzi alijja mu Sayuuni, eri abo abeenenya ebibi byabwe mu Yakobo,”