1ⓠ Awo mu mwaka kabaka Uzziya mwe yafiira, nalaba Mukama ngʼatudde ku ntebe empanvu ngʼagulumizibbwa, nʼekirenge kyʼekyambalo kye nga kijjula yeekaalu.
2Waggulu we yali waali wayimiriddewo basseraafi: buli omu ngʼalina ebiwaawaatiro mukaaga, ebibiri nga bye bibikka ku maaso ge, ebibiri nga bye bibikka ku bigere bye, nʼebibiri ngʼabibuusa.
3ⓡ Buli omu yali ngʼayogera ne munne nʼeddoboozi eryʼomwanguka nti,
3“Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, Mukama Katonda Ayinzabyonna: ensi yonna ejjudde ekitiibwa kye.”
4ⓢ Nʼemisingi gyʼemiryango ne ginyeenyezebwa olwʼeddoboozi lyʼoyo eyali akoowoola mu ddoboozi eryʼomwanguka, yeekaalu nʼejjula omukka.
5Ne ndyoka nkaaba nti, “Zinsanze nze! Nfudde mpeddewo! Kubanga ndi muntu owʼemimwa egitali mirongoofu, era mbeera wakati mu bantu abʼemimwa egitali mirongoofu; kubanga amaaso gange galabye Kabaka, Mukama Katonda owʼEggye!”
6Olwo omu ku basseraafi nʼalyoka abuuka nʼajja gye ndi ngʼalina eryanda eryaka mu ngalo ze, lye yali aggye ku kyoto[7] ne nnamagalo.
7Era nʼalikomya ku kamwa kange, nʼagamba nti, “Laba, lino likoonye ku mimwa gyo, era obutali butuukirivu bwo bukuggyiddwako. Era nʼekibi kyo kikusonyiyiddwa.”
8Ne mpulira eddoboozi lya Mukama ngʼabuuza nti, “Naatuma ani, era ani anaagenda ku lwaffe?” Ne ndyoka njogera nti, “Nze wendi! Tuma nze!”
9ⓣ Nayogera nti, “Genda obuulire abantu bano nti, ‘Okuwulira munaawuliranga naye temutegeerenga, nʼokulaba munaalabanga naye temutegeerenga kye mulabye.’
10Okakanyaze omutima gwʼabantu bano, oggale amatu gaabwe, nʼamaaso gazibe si kulwa nga balaba nʼamaaso gaabwe oba okuwulira nʼamatu gaabwe oba okutegeera nʼemitima gyabwe ne bakyuka bawonyezebwe.”
11Ne ndyoka njogera nti, “Mukama wange birituusa ddi okuba bwe biti?” Nanziramu nti, “Okutuusa ebibuga lwe birizika nga tewali abibeeramu, ne mu mayumba nga temuli muntu, ensi ngʼesigalidde awo,
12okutuusa nga Mukama Katonda agobedde wala buli muntu, era ngʼensi esigadde matongo.
13Nʼekimu ekyʼekkumi ekiriba kisigaddewo, nakyo kirizikirizibwa. Naye ngʼomumyuliru nʼomuvule bwe gireka ebikolo byagyo bwe gitemebwa, bwʼetyo ensigo entukuvu bwʼerigwa mu ttaka nʼesigala ngʼekikolo mu nsi.”