6Ebisibo byʼeŋŋamira birijjula ensi yammwe,eŋŋamira ento ezʼe Midiyaani ne Efa.[33]Era ne zonna ezʼe Seba zirijja nga zeetisse zaabu nʼobubaaneokulangirira ettendo lya Katonda.
7Nʼebisibo byonna ebyʼe Kedali birikukuŋŋanyizibwa,endiga ennume ezʼe Nebayoosi zirikuweereza.Zirikkirizibwa ngʼekiweebwayo ku kyoto kyangeera ndyolesa ekitiibwa kyange mu yeekaalu yange.
7
8“Bano baani abaseyeeya nga ebire,ngʼamayiba agadda mu bisu byago?
9Ddala ddala ebizinga bitunuulidde nze;ebidyeri byʼe Talusiisi bye bikulembeddebireete batabani bammwe okubaggya ewalaawamu ne zaabu yaabwe ne ffeeza,olwʼekitiibwa kya Mukama Katonda wammwe,Omutukuvu wa Isirayiri,kubanga akufudde owʼekitiibwa.”
9
10“Abaana ba bamawanga amalala balizimba bbugwe wo,era bakabaka baabwe bakuweereze;Olwʼobusungu bwange, nakukuba,naye mu kusaasira kwange ndikukwatirwa ekisa.
16Olinywa amata agʼamawanga.Ku mabeere ga bakungu kwʼonooyonkanga,era olimanyira ddala nti,Nze, nze Mukama,nze Mulokozi wo era Omununuzi wo,owʼAmaanyi owa Yakobo.
17Mu kifo kyʼekikomo ndireeta zaabu,mu kifo kyʼekyuma ndireeta effeeza,mu kifo kyʼomuti ndireeta kikomo,ne mu kifo kyʼamayinja ndeete ekyuma.Emirembe gye girifuuka omufuzi wonʼobutuukirivu ne buba omukulembeze wo.
18Okutabukatabuka tekuddeyo kuwulirwa mu nsi yo,wadde okwonoona nʼokuzikiriza munda mu nsalo zo.Ebisenge byo olibiyita Bulokozi,Era nʼenzigi zo, Kutendereza.
19ⓔ Enjuba si yeenekumulisizanga emisana,oba omwezi okukumulisizanga ekiro.Kubanga Mukama yʼanaabeeranga ekitangaala kyo ekyʼemirembe nʼemirembe,era Katonda wo yʼanaabeeranga ekitiibwa kyo.
20Enjuba yo terigwa nate,nʼomwezi gwo tegulibula;Mukama yʼanaabeeranga ekitangaala kyo ekyʼemirembe nʼemirembeera ennaku zo ezʼokukungubanga zikome.