1ⓕ Omwoyo wa Mukama Katonda ali ku nze, kubanga Mukama anfuseeko amafuta okubuulira abaavu nʼabali obubi ebigambo ebirungi, antumye okuyimusa abalina emitima egimenyese. Okulangirira eddembe eri abawambe, nʼabasibe bateebwe bave mu makomera.
2ⓖ Okulangirira omwaka gwa Mukama ogwʼokulabiramu obulungi bwe; olunaku lwa Mukama olwʼokuwalanirako eggwanga era nʼokuzzaamu amaanyi abo bonna abakungubaga.
3Okugabirira abo bonna abali mu Sayuuni abakungubaga, okubawa engule eyʼobubalagavu mu kifo kyʼevvu, nʼamafuta agʼessanyu mu kifo kyʼennaku. Ekyambalo kyʼokutendereza mu kifo kyʼomwoyo wʼokukeŋŋeentererwa balyoke bayitibwe mivule gyʼabutuukirivu, ebisimbe bya Mukama, balyoke baweebwe ekitiibwa.
4Baliddamu bazimbe ebyali bizise, balirongoosa ebibuga ebyali byerabirwa edda.
5Abaamawanga balibalundira ebisibo byammwe, abagwira babakolere mu nnimiro zammwe ne mu nnimiro zʼemizabbibu.
6Era muyitibwe bakabona ba Mukama, abantu baliboogerako ngʼabaweereza ba Mukama, mulirya obugagga bwʼamawanga, era mu bugagga bwabwe mwe mulyenyumiririza.
7Mu kifo kyʼensonyi, abantu bange baliddizibwawo emirundi ebiri. Mu kifo kyʼokuswala basanyuke olwʼebyo bye balifuna era balifuna omugabo gwa mirundi ebiri, essanyu lyabwe liribeerera emirembe gyonna.
8Kubanga nze, Mukama, njagala obwenkanya, nkyawa okunyaga era nʼobutali butuukirivu. Mu bwesigwa bwange ndibasasula era nkole nabo endagaano eyʼemirembe nʼemirembe.
9Nʼezzadde lyabwe liritutumuka nnyo mu mawanga nʼabaana baabwe eri abantu. Abo bonna abalibalaba balibamanya, nti bantu Mukama be yawa omukisa.
9
10ⓗ Nsanyukira nnyo mu Mukama, emmeeme yange esanyukira mu Katonda wange. Kubanga annyambazizza ebyambalo ebyʼobulokozi era nʼanteekako nʼomunagiro ogwʼobutuukirivu, ngʼomugole omusajja bwʼayambala engule nga kabona, ngʼomugole omukazi bwʼayambala amayinja ge agʼomuwendo.
11Kuba nga ettaka bwe livaamu ebimera, era ngʼennimiro bwereetera ensigo okumeruka, bwʼatyo Mukama Katonda bwalireeta obutuukirivu nʼettendo okumeruka, ensi zonna zikirabe.