1ⓘ Ku lwa Sayuuni ssiisirike, era ku lwa Yerusaalemi ssiiwummule, okutuusa nga obutuukirivu bwe butemagana ngʼemmambya esala, obulokozi bwe ngʼettaala eyaka.
2Amawanga galiraba obutuukirivu bwo, era ne bakabaka bonna baliraba ekitiibwa kyo. Oliyitibwa erinnya epya akamwa ka Mukama lye kalikuwa.
3Olibeera ngule etemagana mu mikono gya Mukama, enkuufiira yʼobwakabaka mu mukono gwa Katonda wo.
4ⓙ Ataliddayo kuyitibwa nti, Eyalekebwa, ensi yo teriddamu kuyitibwa nti, Yazika. Naye oliyitibwa nti, Gwe nsanyukira, nʼensi yo eyitibwe nti, Eyafumbirwa. Kubanga Mukama akusanyukira era ensi yo eribeera ngʼomukazi afumbiddwa.
5Kubanga ngʼomuvubuka bwawasa omuwala omuto bwʼatyo eyakutonda bwalikulabirira. Nga omugole omusajja bwasanyukira oyo gwʼawasizza, bwʼatyo Katonda bwalikusanyukira.
6Ntadde abakuumi ku bbugwe wo, ggwe Yerusaalemi abataasirike emisana nʼekiro. Mmwe abakoowoola Mukama temuwummula.
7Era temumuganya kuwummula okutuusa nga azimbye Yerusaalemi era ngʼagifudde ettendo mu nsi.
7
8Mukama yalayira nʼomukono gwe ogwa ddyo era nʼomukono gwe ogwʼamaanyi: “Siriddayo nate kuwaayo ŋŋaano yo kubeera mmere yʼabalabe bo, era bannaggwanga tebaddeyo kunywa nvinnyo yo gyʼotawaanidde.
9Naye abo abagikungula be baligirya ne batendereza Mukama, nʼabo abanoga emizabbibu be baliginywera mu mpya zʼomu watukuvu wange.”
10Muyiteemu, muyite mu miryango mugende! Muzimbe oluguudo, mulugyemu amayinja. Muyimusize amawanga ebbendera.
10
11ⓚ Laba Mukama alangiridde eyo yonna ensi gyʼekoma, nti, “Gamba omuwala wa Sayuuni nti, ‘Laba omulokozi wo ajja, Laba aleeta nʼebirabo bingi, nʼabantu bʼanunudde bamukulembedde.’ ”
12Era baliyitibwa Abantu Abatukuvu, Abanunule ba Mukama, ne Yerusaalemi kiyitibwe, Ekibuga Mukama kyʼayagala, Ekibuga Ekitakyali ttayo.