1ⓛ Ani ono ava mu Edomu mu kibuga Bozula anekaanekanye mu ngoye emyufu. Ani ono ali mu ngoye za bakabaka akumba mu bukulu bwʼekitiibwa kye? “Ye nze alangirira obutuukirivu, owʼamaanyi okulokola.”
2Lwaki oyambadde ebyambalo ebimyufu ngʼebyʼomusogozi wʼomu ssogolero lya wayini?
3ⓜ “Nva kulinnyirira amawanga nga emizabbibu, tewali nʼomu yajja kunnyambako. Nabalinnyiririra mu busungu era omusaayi gwabwe ne gusammukira ku ngoye zange, era guyiise ku byambalo byange.
4Kubanga olunaku olwʼokununula abantu bange lwali lutuuse, olunaku olwʼokuwoolera eggwanga abalabe baabwe.
5ⓝ Natunula naye nga tewali nʼomu ayinza kunnyamba, newuunya okulaba nga tewaali nʼomu ayinza kunkwatirako. Kale omukono gwange ne gundeetera obuwanguzi, era obusungu bwange ne bunnyweza.
6Mu busungu bwange nalinnyirira abantu, mu kiruyi kyange ne mbatamiiza, omusaayi gwabwe ne nguyiwa ku ttaka.”
7ⓞ Ndibuulira ku bulungi bwa Mukama, ebikolwa ebyamugwanyisa okutenderezebwa, okusinziira ku byonna Mukama byʼatukoledde; weewaawo ebirungi ebingi byʼakoledde ennyumba ya Isirayiri, okusinziira ku kisa kye, okusinziira ku bungi bwʼokwagala kwe okutajjulukuka.
8Yagamba nti, “Ddala bantu bange, abaana aboobulenzi abatannimbelimbe,” era bwʼatyo nʼafuuka omulokozi waabwe.
9Yabonaabonera wamu nabo mu kubonaabona kwabwe kwonna, era malayika ayimirira mu maaso ge nʼabawonya. Mu kwagala kwe nʼekisa kye yabanunula; yabayimusa nʼabeetikka mu nnaku zonna ezʼedda.
10Naye baajeema ne banyiiza Mwoyo Mutukuvu, kyeyava abakyukira nʼafuuka omulabe waabwe era ye kennyini nʼabalwanyisa.
11Ne balyoka bajjukira ennaku ezʼedda, ennaku ezʼedda eza Musa nʼabantu be; aluwa oyo eyabayisa mu nnyanja nʼomulunzi wʼekisibo kye. Aluwa oyo eyateeka Mwoyo Mutukuvu wakati mu bo
12ⓟ eyatuma omukono gwe ogwʼekitiibwa ogwʼamaanyi okubeera ku mukono gwa Musa ogwa ddyo, eyayawulamu amazzi nga balaba, yeekolere erinnya eryʼemirembe nʼemirembe?
13Ani eyabakulembera nʼabayisa mu buziba? Ngʼembalaasi mu nsi eyeetadde enjereere tebeesittala.
14Ngʼente ezigenda mu nsi eyeetadde, Omwoyo wa Mukama yabawummuza. Bwʼotyo bwe wakulembera abantu bo okwekolera erinnya eryʼettendo.
15Tunula wansi ngʼoli waggulu mu ggulu olabe, ngʼoli ku ntebe yo eyʼekitiibwa egulumidde entukuvu. Obunyiikivu bwo nʼebikolwa byo ebyʼamaanyi biri ludda wa? Obulungi bwo nʼekisa bitukwekeddwa.
16Ggwe Kitaffe, wadde nga Ibulayimu tatumanyi era nga Isirayiri tatutegeera, Ayi Mukama Katonda, ggwe Kitaffe Omununuzi waffe okuva edda nʼedda lye linnya lyo.
17Ayi Mukama Katonda, lwaki otuleka ne tuva ku makubo go, nʼokakanyaza omutima gwaffe, ne tutakutya? Komawo olwʼobulungi bwʼabaddu bo amawanga gʼomugabo gwo.
18Abantu bo abatukuvu baali mu kifo kyo ekitukuvu akaseera katono, naye kaakano abalabe baffe bakirinnyiridde.
19Ffe tuli bantu bo okuva edda nʼedda; naye bo tobafuganga, tebayitibwanga linnya lyo.