1ⓠ Kale singa oyuzizza eggulu nʼokka wansi, ensozi ne zikankana mu maaso go!
2Ngʼomuliro bwe gukoleerera mu buku, oba nga bwe gufumba amazzi ne gatuuka okwesera, ka wansi omanyise erinnya lyo eri abalabe bo, nʼamawanga galyoke gakankanire mu maaso go!
3Kubanga bwe wakola ebintu ebyʼentiisa bye twali tetusuubira, wakka ensozi ne ziryoka zikankanira mu maaso go.
4ⓡ Okuva mu mirembe egyʼedda teri yali awulidde oba kutu kwali kutegedde, oba liiso lyali lirabye Katonda yenna okuggyako ggwe, alwanirira abo abamulindirira.
5Ojja nʼodduukirira abo abakola ebyʼobutuukirivu nʼessanyu, abo abajjukira amakubo go. Naye bwe tweyongera okwonoona ne tugavaako, wakwatibwa obusungu. Ebbanga ddene lye tumaze mu bibi byaffe, ddala tulirokolebwa?
6Ffenna twafuuka batali balongoofu era obutuukirivu bwaffe buli nga nziina ezijjudde ekko. Ffenna tuwotookerera ne tukala ngʼekikoola, era ebibi byaffe bitutwala nga mpewo.
7Tewali nʼomu akoowoola linnya lyo oba eyewaliriza okukukwatako, kubanga watwekweka tetukyalaba maaso go, era nʼotuwaayo ne tuzikirira olwʼebibi byaffe.
8Ate ngʼera, Ayi Mukama Katonda, ggwe Kitaffe. Ffe tuli bbumba, ggwe mubumbi, ffe ffenna tuli mulimu gwa mikono gyo.
9Tosunguwala kisukkiridde nnyo, Ayi Mukama Katonda, tojjukira bibi byaffe mirembe gyonna. Weewaawo, tutunuulire, tusaba, kubanga tuli bantu bo.
10ⓢ Ebibuga byo ebitukuvu bifuuse malungu ne Sayuuni kifuuse ddungu, ne Yerusaalemi nakyo kifulukwa.
11Yeekaalu yaffe entukuvu eyʼekitiibwa bakitaffe gye bakutendererezangamu eyokebbwa omuliro, era byonna ebyʼobugagga bye twakuumanga byazikirira.
12ⓣ Nga bino byonna biguddewo, Mukama, era toofeeyo? Onoosirika busirisi nʼotubonereza ekisukiridde?