1 ⓤ Mukama nʼalyoka agamba nti, “Nze nnali mwetegefu okweyoleka eri abo abaali tebannoonya. Neeraga abo abaali tebannoonya. Eri eggwanga eryali litakoowoola linnya lyange nneyoleka gye bali ngʼaŋŋamba nti, ‘Ndi wano, Ndi wano.’
2 ⓥ Nagolola emikono gyange olunaku lwonna okutuusa obudde okuziba eri abantu abeewagguzze, abatambulira mu makubo amabi abagoberera entegeka ezaabwe ku bwabwe;
3 abantu bulijjo abansomooza mu maaso gange gennyini nga bawaayo ebiweebwayo mu nnimiro ne bookera nʼebiweebwayo ku byoto ebyʼamatoffaali;
4 abatuula mu malaalo ne bamalako ekiro kyonna mu bifo ebyekusifu, abalya ennyama yʼembizzi, era nʼamaseffuliya gaabwe gajjudde ennyama etali nnongoofu.
5 Bagamba nti, ‘Beera wala, tojja kumpi nange, kubanga ndi mutuukirivu nnyo ggwe okunsaanira!’ Abantu bwe batyo mukka mu nnyindo zange, omuliro ogwaka olunaku lwonna.
5
6 “Laba kiwandiikiddwa mu maaso gange. Sijja kusirika naye nzija kusasula mu bujjuvu, nzija kubasasula bibatuukireko ddala;
7 olwʼebibi byammwe byonna era nʼolwʼebibi bya bakitammwe,” bwʼayogera Mukama Katonda. “Kubanga baayokera ebiweebwayo byabwe ku lusozi era ne bannyoomera ku busozi, ndibalira mu mikono gyabwe empeera yennyini enzijuvu eyʼebikolwa byabwe ebyʼedda.”
8 Bwʼatyo bwʼayogera Mukama: “Ngʼomubisi bwe gusangibwa mu kirimba kyʼemizabbibu abantu ne bagamba nti, ‘Togwonoona, gukyalimu akalungi,’ bwe ntyo bwe ndikibakolera olwʼobulungi bwʼabaweereza bange. Sijja kubasaanyaawo bonna.
9 Ndiggya ezzadde okuva mu Yakobo era ne mu Yuda abo abalitwala ensozi zange; abantu bange abalonde balizigabana, era eyo abaweereza bange gye balibeera.
10 ⓦ Awo Saloni kiribeera ddundiro lya bisibo, era nʼekiwonvu kya Akoli kifo kya nte we zigalamira olwʼabantu bange abannoonya.”
10
11 “Naye mmwe abava ku Mukama ne mwerabira olusozi lwange olutukuvu ne muteekerateekera emmeeza katonda wammwe, Mukisa, ne mujuliza katonda wammwe, Kusalawo, ebikopo ebya wayini,
12 ndibawaayo eri ekitala era mwenna mukutaamirire musalibwe, kubanga nabayita naye temwayitaba, nayogera naye temwampuliriza. Mwakola ebitasaana era ne musalawo okukola ebitansanyusa.”
13 Noolwekyo kino Mukama Ayinzabyonna kyʼagamba: “Abaweereza bange bajja kulya, naye mmwe mujja kulumwa enjala, abaweereza bange bajja kunywa, naye mmwe mulumwe ennyonta; abaweereza bange bajja kujaguza, naye mmwe mukwatibwe ensonyi.
14 Abaweereza bange bajja kuyimba olwʼessanyu erinaaba mu mitima gyabwe, naye mmwe muli ba kukaaba olwʼokulumwa okunaabeera mu mitima gyammwe era mukaabe olwʼokulumwa emyoyo.
15 Ekikolimo kiryoke kibagwire, Nze Mukama Katonda owʼEggye mbatte amannya gammwe geerabirwe, naye mpe amannya amaggya abo abaŋŋondera.
16 Kiryoke kibeere nti buli muntu ananoonya okufuna omukisa anaagunoonya kuva eri Katonda Owʼamazima buli anaalayiranga mu ggwanga anaalayiranga Katonda owʼamazima. Kubanga emitawaana egyayita gya kwerabirwa gikwekebwe okuva mu maaso gange.”
17 ⓧ “Laba nditonda eggulu eriggya nʼensi empya. Ebintu ebyʼedda tebijja kujjukirwa wadde okulowoozebwako mu mutima.
18 Naye musanyukire ekyo kye ntonda mujaguze emirembe nʼemirembe, kubanga nditonda Yerusaalemi okuba essanyu nʼabantu baamu okuba okujaguza.
19 ⓨ Ndijaguza olwa Yerusaalemi era nsanyukire abantu bange; amaloboozi agʼokukaaba tegaliddayo kuwulirwamu.”
19
20 “Teriddayo kuba mu kyo mwana muwere anaaberawo ennaku obunaku, oba omusajja omukulu ataamalengayo myaka gye; oyo alifiira ku myaka ekikumi alitwalibwa ngʼomuvubuka obuvubuka. Oyo atalituusa kikumi abalibwe ngʼeyakolimirwa.
21 Balizimba ennyumba bazisulemu, balisimba emizabbibu balye ebibala byagyo.
22 Tebalizimba nnyumba ate omulala agisulemu, tebalisimba ate omulala abirye. Kubanga emyaka gyʼemiti nga bwe giba bwe gityo bwe giribeera emyaka gyʼabantu bange. Abalonde bange balirwawo nga bawoomerwa emirimu gyʼemikono gyabwe.
23 Tebalikolera bwereere oba okuzaala abaana abʼokugwa mu katyabaga, kubanga balibeera abantu abaweebwa Mukama Katonda omukisa, bo awamu nʼabʼenda yaabwe.
24 Nga tebanakoowoola ndibaddamu, nga bakyayogera bati mbaddemu.
25 ⓩ Omusege nʼomwana gwʼendiga biriire wamu, era empologoma erye omuddo ngʼennume, era ettaka libeere emmere yʼomusota. Tewaliba kulumya wadde kuzikiriza ku lusozi lwange olutukuvu,”
25 bwʼayogera Mukama Katonda.
© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.