1ⓐ Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda, “Eggulu yʼentebe yange kwe nfugiranʼensi ke katebe kwe mpummuliza ebigere byange,nnyumba ki gye mulinzimbira?Kifo ki kye mulimpa okuwummuliramu?
2Ebintu bino byonna emikono gyange si gye gyagikola,noolwekyo ebintu bino byonna byange?” “Ono ye muntu gwe ntunulako;oyo owʼeggonjebwa era omwetoowaze mu mwoyo,oyo akankanira ekigambo kyange.
17“Abo abeetukuza balyoke balage mu nnimiro entukuvu okukola ebyʼemizizo, abatambulira mu nnyiriri nga bwe balya embizzi, omusonso nʼemmere eyʼomuzizo, bonna balizikirira wamu,” bwʼayogera Mukama Katonda.
18“Olwʼebyo bye bakola ne bye balowooza, nnaatera okujja nkuŋŋaanye amawanga gonna nʼennimi zonna, era balijja balabe ekitiibwa kyange.
19ⓒ “Nditeeka akabonero mu bo. Ndiwonyaako abamu mbasindike mu mawanga, e Talusiisi, e Puuli[34], nʼe Luudi, abaleega omutego, eri Tubali ne Yavani,[35] mu bizinga ebyʼewala, abatawuliranga ttutumu lyange, wadde okulaba ekitiibwa kyange.
20Balikomyawo baganda bammwe bonna okuva mu mawanga nga ekirabo gye ndi. Balibaleetera ku mbalaasi, ne mu magaali ge mbalaasi nʼebigaali ne ku nnyumbu nʼeŋŋamira ku lusozi lwange olutukuvu nga Isirayiri bwe baleeta ebiweebwayo ebirongoofu mu nnyumba ya Mukama Katonda.
21Era ndifuula abamu ku bo okubeera bakabona nʼabaleevi,” bwʼayogera Mukama Katonda.
23Okuva ku mwezi okutuuka ku mwezi, nʼokuva ku ssabbiiti okutuuka ku ssabbiiti, bonna abalina omubiri banajjanga okusinziza mu maaso gange,” bwʼayogera Mukama Katonda.
24ⓔ “Kale bwe baliba bafuluma, baliraba emirambo gyʼabasajja abanneewaggulako; kubanga envunyu zaabwe tezirifa, so nʼomuliro gwabwe tegulizikizibwa; era baliba kyennyinnyalwa eri abantu bonna.”