Isaaya 7:1-25 LGCB2014 - Bible AI

1 Awo olwatuuka mu mirembe gya Akazi omwana wa Yosamu, omwana wa Uzziya, kabaka wa Yuda, Lezini kabaka wʼe Busuuli, ne Peka omwana wa Lemaliya, kabaka wa Isirayiri ne bambuka okulwanyisa Yerusaalemi naye ne balemererwa.[8]

2Amawulire bwe gatuuka eri Kabaka wa Yuda nti, “Obusuuli bwegasse ne Efulayimu okubalumba”; omutima gwe nʼegyʼabantu ba Yuda bonna ne gikankana, ne giba ngʼemiti egyʼomu kibira eginyeenyezebwa embuyaga.

3Mukama Katonda nʼalyoka agamba Isaaya nti, “Fuluma kaakano osisinkane Akazi, ggwe ne mutabani wo Seyalusayubu, olusalosalo olwʼekidiba ekyengulu we lukoma, mu luguudo olwʼEnnimiro yʼOmwozi wʼEngoye,

4omugambe nti, ‘Weegendereze, beera mukkakkamu toba na kutya omutima gwo teguggwaamu maanyi olwʼemimuli gino eginyooka egiggweeredde, olwʼobusungu bwa Lezini, nʼobwa Obusuuli nʼobwʼomwana wa Lemaliya obubuubuuka.’

5Kubanga Obusuuli ne Efulayimu ne mutabani wa Lemaliya bateesezza okukuleetako obulabe nga boogera nti,

6‘Ka twambuke tulumbe Yuda, tukiyuzeeyuze tukyegabanye, tufuule omwana wa Tabeeri okuba kabaka waakyo.’

7Bwʼati bwʼayogera Mukama Katonda nti,

7‘Ekyo tekiibeewo era tekirituukirira.

8Kubanga Damasiko ge maanyi ga Busuuli era ne Lezini ge maanyi ga Damasiko. Mu bbanga lya myaka nkaaga mu etaano Efulayimu kiribetentebwatentebwa nga tekikyali ggwanga.

9Ne Samaliya ge maanyi ga Efulayimu, era mutabani wa Lemaliya ge maanyi ga Samaliya. Bwe mutalinywerera mu kukkiriza kwammwe, ddala temuliyimirira nʼakatono.’ ”

10Mukama Katonda nʼaddamu nʼagamba Akazi nti,

11“Saba Mukama Katonda wo akabonero, ne bwe kanaaba mu buziba, oba mu magombe oba mu bwengula.”

12Naye Akazi nʼagamba nti, “Sijja kusaba kabonero, sijja kugezesa Mukama Katonda.”

13Isaaya nʼayogera nti, “Muwulire mmwe kaakano, mmwe ennyumba ya Dawudi! Okugezesa abantu tekibamala? Ne Katonda munaamugezesa?

14 Noolwekyo Mukama Katonda yennyini kyaliva abawa akabonero; laba omuwala atamanyi musajja alizaala omwana wabulenzi era alituumibwa erinnya Emmanweri.

15Bwʼalituuka okwawula ekirungi nʼekibi aliba alya muzigo na mubisi gwa njuki.

16Kubanga ngʼomwana bwʼaba nga tannamanya kugaana kibi nʼalondawo ekirungi, ensi ezʼabakabaka ababiri bootya erisigala matongo.

17Mukama Katonda alikuleetako ne ku bantu bo ne ku nnyumba ya kitaawo ennaku ezitabangawo bukyanga Efulayimu eva ku Yuda; agenda kuleeta kabaka wʼe Bwasuli.”

18Olunaku olwo nga lutuuse, Mukama Katonda alikoowoola ensowera eri mu bifo ebyʼewala ebyʼemigga egyʼe Misiri, nʼenjuki eri mu nsi yʼe Bwasuli.

19Era byonna birijja bituule mu biwonvu ebyazika, ne mu njatika zʼomu mayinja, ku maggwa, ne ku malundiro gonna.

20Ku lunaku luli Mukama alimwesa akawembe akapangisiddwa emitala wʼemigga, ye kabaka wʼe Bwasuli, kammwe omutwe, nʼobwoya bwʼoku magulu, kasalireko ddala nʼekirevu.

21Newaakubadde mu nnaku ezo, ngʼomuntu alisigaza ente emu yokka nʼendiga bbiri,

22naye olwʼobungi bwʼamata agabivaamu, alirya ku muzigo. Kubanga buli alisigalawo mu nsi alirya muzigo na mubisi gwa njuki.

23Era ngʼolunaku lutuuse, buli kifo awaabanga emizabbibu, ngʼolukumi lubalibwamu kilo kkumi nʼemu nʼekitundu, kiriba kisigaddemu myeramannyo nʼamaggwa.

24Abantu baligendayo na busaale na mitego, kubanga ensi yonna eriba efuuse myeramannyo na maggwa.

25Nʼensozi zonna ze baalimanga nʼenkumbi nga tezikyatuukikako olwʼokutya emyeramannyo nʼamaggwa, era kirifuuka ekifo ente nʼendiga we byerundira.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.