16Nyweza obujulirwaokakase amateeka mu bayigirizwa bange.
17ⓨ Nange nnaalindirira Mukama Katondaakwese amaaso ge okuva ku nnyumba ya Yakobo,mmunoonye nʼessuubi.
18ⓩ Laba, nze nʼabaana Mukama Katonda bampadde tuli bubonero nʼebyewuunyo mu Isirayiri obuva eri Mukama Katonda owʼEggye, abeera ku lusozi Sayuuni.
19Abantu bwe babagamba nti Mwebuuze ku abo abaliko emizimu, nʼabasamize abakaaba ngʼennyonyi era abajoboja, eggwanga tekirigwanira kwebuuza ku Katonda waalyo? Lwaki ebikwata ku balamu mubibuuza abafu?
20Tudde eri amateeka nʼobujulirwa! Bwe baba teboogera bwe batyo, mazima obudde tebugenda kubakeerera.
21Era baliyita mu nsi nga beeraliikirira nnyo nga balumwa enjala; era enjala bweriyitirira okubaluma ne banyiiga era nga batunudde waggulu balikolimira kabaka ne Katonda waabwe.
22Era bwe balitunula ku nsi baliraba nnaku na kizikiza, nʼentiisa eyʼokubonaabona basuulibwe mu kizikiza ekikutte zigizigi.