Isaaya 9:1-21 LGCB2014 - Bible AI

1 Naye tewaliba kizikiza eri oyo eyali mu kubonaabona. Edda yatoowaza ensi ya Zebbulooni nʼensi ya Nafutaali, naye mu kiseera ekijja aliwa Ggaliraaya ekitiibwa, ensi eyʼabamawanga emitala wa Yoludaani, awali ekkubo erigenda ku nnyanja.

2 Abantu abaatambuliranga mu kizikiza balabye ekitangaala ekyʼamaanyi, abo abaatuulanga mu nsi eyʼekizikiza ekingi, omusana gubaakidde.

3Oyazizza eggwanga, obongedde essanyu, basanyukira mu maaso go ngʼabantu bwe basanyuka mu biseera ebyʼamakungula, ngʼabasajja bwe basanyuka nga bagabana omunyago.[11]

4Nga ku lunaku Abamidiyaani lwe baawangulwa, omenye ekikoligo ekyamuzitoowereranga, nʼekiti ekyʼoku kibegabega kye, nʼoluga lwʼoyo amunyigiriza.

5Kubanga buli ngatto ya mulwanyi ekozesebwa mu lutalo na buli kyambalo ekibunye omusaayi, biriba bya kwokebwa, bye birikozesebwa okukoleeza omuliro.

6Kubanga omwana atuzaaliddwa ffe, omwana owoobulenzi atuweereddwa ffe, nʼokufuga kunaabanga ku bibegabega bye. Nʼerinnya lye aliyitibwa nti, Wa kitalo, Omuwi wʼamagezi, Katonda Ayinzabyonna, Kitaffe owʼEmirembe Gyonna, Omulangira wʼEmirembe.

7 Okufuga kwe nʼemirembe biryeyongeranga obutakoma. Alifugira ku ntebe ya Dawudi ne ku bwakabaka bwe, nʼokubuwanirira nʼobwenkanya nʼobutuukirivu okuva leero okutuusa emirembe gyonna. Obumalirivu bwa Mukama Katonda owʼEggye bulikituukiriza ekyo.

8Mukama yaweereza obubaka obukwata ku Yakobo,[12] ku birituuka ku Isirayiri.

9Era abantu bonna balibumanya, Efulayimu nʼabantu bʼomu Samaliya aboogera nʼamalala nʼomutima omukakanyavu,

10nti, “Amatoffaali gagudde wansi naye tulizimbya amayinja amateme, emisukamooli gitemeddwawo naye tulizzaawo emivule.”

11Mukama Katonda kyaliva awa abalabe ba Lezini amaanyi bamulumbe; alibakumaakuma bamulumbe.

12 Abasuuli balisinziira mu buvanjuba, nʼAbafirisuuti bave e bugwanjuba, balyoke basaanyeewo Isirayiri nʼakamwa akaasamye.

12Newaakubadde nga biri bityo, obusungu bwa Mukama buliba tebunnavaawo era omukono gwe guliba gukyagoloddwa.

13Kubanga abantu tebakyuse kudda wadde okunoonya Mukama Katonda owʼEggye eyabakuba.

14Bwʼatyo Mukama Katonda kyaliva asala ku Isirayiri, omutwe nʼomukira, ettabi nʼolukindu mu lunaku lumu.

15Omutwe be bakadde nʼabantu abʼekitiibwa, nʼomukira be bannabbi abayigiriza ebyʼobulimba.

16Kubanga abakulembera abantu bano bababuzaabuuza, nʼabo abakulemberwa babuzibwabuzibwa.

17Noolwekyo, Mukama tajja kusanyukira bavubuka, wadde okukwatirwa ekisa abo abataliiko ba kitaabwe wadde bannamwandu; kubanga buli omu mukozi wa bibi, era buli kamwa konna kogera ebyʼobuwemu.

17Olwa bino byonna, obusungu bwa Mukama tebunakyusibwa kubavaako, era omukono gwe gukyagoloddwa.

18Ddala ekibi kyokya ngʼomuliro; gumalawo emyeramannyo nʼobusaana. Era gukoleeza ebyʼomu kibira, omukka ne gunyooka ne gutumbiira waggulu.

19Olwʼobusungu bwa Mukama Katonda owʼEggye ensi eggiiridde ddala, era nʼabantu bali ngʼenku ezʼokukuma omuliro, tewali muntu alekawo muganda we.

20Balimalawo ebyʼoku mukono ogwa ddyo, naye balisigala bayala; balirya nʼebyʼoku kkono, naye tebalikkuta. Buli omu alirya ku mubiri gwʼezzadde lye.

21 Manase alirya Efulayimu ne Efulayimu nʼalya Manase ate bombi ne balya Yuda.

21Naye wadde nga biri bityo, obusungu bwa Mukama buliba tebunnavaawo, era nʼomukono gwe guliba gukyagoloddwa.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.