2Ayi Mukama, ndituusa ddi okukukaabirira naye nga tompuliriza? Lwaki nkukaabirira nti, “Ebikolwa ebyʼobukambwe bimpitiriddeko,” naye nʼotonnyamba?
3Lwaki ondaga obutali bwenkanya era lwaki ogumiikiriza obukyamu? Kubanga okuzikiriza nʼebikolwa ebyʼobukambwe biri mu maaso gange, empaka nʼennyombo byeyongede.
4Amateeka kyegavudde gatagonderwa era nʼobwenkanya ne butakolebwa. Ababi be basinga abatuukirivu obungi era babeebunguludde, nʼobwenkanya ne bulinnyirirwa.
5ⓐ “Mutunuulire amawanga, mwetegereze. Mwewuunyize ddala nnyo. Kubanga ŋŋenda kukola omulimu mu nnaku zammwe gwe mutalikkiriza newaakubadde nga mugubuuliddwa.
6Kubanga laba, nkuyimusiza Abakaludaaya, eggwanga eryo eririna ettima era ekkambwe, ababunye ensi eno nʼeri nga bawamba amawanga agatali gaabwe.
7Ba ntiisa, batiibwa, be beetekera amateeka gaabwe era be bagassa mu nkola, nga balwanirira ekitiibwa kyabwe.
8Embalaasi zaabwe zidduka okukira engo, era mu bukambwe zikira emisege egyʼekiro. Abasajja abeebagala embalaasi bava mu nsi eyʼewala era bajja beesaasaanyizza ne banguwa okutuuka ngʼensega bwʼerumba kyʼeneerya.
9Bajja nʼeryanyi bonna, ebibinja byabwe birumba ngʼembuyaga eyʼomu ddungu; ne balyoka bayoola abawambe abangi ngʼomusenyu.
10Weewaawo, basekerera bakabaka ne baduulira nʼabakungu. Basekerera buli kibuga ekiriko ekigo ne bakituumako ebifunfugu ne balinnyira okwo, ne bakiwamba.
11Awo ne bayita nga bakunta ngʼembuyaga; abantu bano omusango be gwasinga, eryanyi lyabwe ye katonda waabwe.”
12Ayi Mukama toli wa mirembe na mirembe, ggwe Mukama Katonda wange, si ggwe Mutukuvu wange? Tetulifa. Ayi Mukama ggwe wabateekawo nʼobawa amaanyi batusalire emisango. Era ggwe Olwazi, wabateekawo kubonereza.
13Amaaso go gajjudde obulongoofu tegatunula ku kibi, so toyinza kugumiikiriza bukyamu. Kale lwaki ggwe ogumiikiriza abʼenkwe, nʼosirika ngʼomubi amalirawo ddala omuntu amusinga obutuukirivu?
14Kubanga abantu obafudde ngʼebyennyanja ebyʼomu nnyanja, ngʼebitonde ebyʼomu nnyanja ebitaliiko abifuga.
15Omulabe omubi abakwata bonna ngʼeddobo, oluusi nʼabawalula mu katimba ke, nʼabakuŋŋaanya mu kiragala kye nʼalyoka asanyuka nʼajaguza.
16Kyava awaayo ssaddaaka eri akatimba ke nʼayotereza nʼekiragala kye obubaane; akatimba ke kamuwa obulamu obwʼokwejalabya, nʼalya emmere eyʼekigagga.
17Kale, bwe batyo bwe banaalekebwa okutikkula obutimba bwabwe, nʼokusaanyaawo amawanga awatali kusaasira?